Okukuma olumbe lwa nnamwandu wa Ssebaana kuyimiriziddwa

By Hannington Nkalubo

ENTEEKATEEKA z’okukomyawo omulambo gwa nnamwandu wa John Ssebaana Kizito zitandise okukolebwa era aba famire bategeezezza nti gusuubirwa okutuuka mu bbanga lya wiiki ssatu okuva kati.

Kizito 350x210

Mu mbeera eno okukuma olumbe kukyayimiriziddwa okutuusa ng’abaana abaleeta omulambo gwa nnyaabwe bakakasizza nti gutuuka enkeera mu ggwanga. Omulambo bagusuubira okutuuka nga September 21 2018.

Noolwekyo abakungubazi ababadde batandise okweyiwa mu maka g’omugenzi Ssebaana Kizito e Kansanga bakyabayimirizza kubanga omulambo tegunnatuuka.

Baasabye abakungubazi okulindako okujja mu maka g'omugenzi Ssebaana kubanga enteekateeka z'okuzza omulambo n'okuziika zikyakolebwako.

Baasuubizza okubategeeza ebigenda mu maaso nga bayita ku mikutu gy'empuliziganya egy'enjawulo kwe banaayisa ebirango. Nnamwandu Christine Kizito yafudde kibwatukira ku Lwokusatu ku ssaawa ttaano ez’oku makya eza Uganda.

Omutima gwesibye, omusaayi ne gulemererwa okutambula n’asannyalala era n’afa nga tatwaliddwa wadde mu ddwaaliro.

Abadde abeera London ne bawala be basatu okuli Joyce Kizito, Christine Kizito ne Jennifer Kizito ssaako Ruth Kizito azaalibwa mukyala wa Ssebaana omulala Eseza Nantongo.

Omu ku ba famire eyasabye amannya gasirikirwe yagambye nti omusika Joseph Kizito abadde yaakaddayo e Brazil gy'akolera ng'oluwummula lwe lwakaggwaako. Kati kiba kimwetaagisa okuddamu okusaba bakama be okudda okuziika.

Eby'okuziika omugenzi kyasaliddwaawo nti agenda kuziikibwa mu kifo kye kimu ne bba Ssebaana e Kalule okumpi n’e Bombo.

Joseph Kizito amazze ebbanga ng'akolera mu bbanka y’ensi yonna. Ekiseera taata we Ssebaana lwe yabeera Meeya wa Kampala yaliko ku mulimu gw'okuzimba omwala gwa Nakivubo ogwakolebwa Bbanka y’ensi yonna.

Bannyina ababadde babeera ne nnyaabwe e Bungereza nabo babadde tebannaba kwetereeza kusobola kukomyawo nnyaabwe kyokka ng'enteekateeka zikolebwa.

Ate abadde muggya wa Christine Kizito ayitibwa Eseza Nantongo ye yafudde bulwadde bwa kookolo ku Lwokubiri mu ssaawa z’olweggulo.

Aziikibwa leero (Lwakutaano) ku kyalo Bbaati ekisangibwa e Kalamba mu Ssingo. Aba Famire bamusabidde mu kkanisa e Kibiri, oluvannyuma yatwaliddwa mu kyalo Kalamba okuziikibwa.