Bannayuganda banyumiddwa obulamu mu UNAA Causes mu Washington

By Josephat Sseguya

Bannayuganda banyumiddwa obulamu mu UNAA Causes mu Washington

Bam2 350x210

BANNAYUGANDA abeegattira mu kibiina kya UNAA Causes mu Amerika basula babuinuka. Ku Lwokutaano baakung'aanidde mu woteri emanyiddwa nga Gaylord Resort Hotel mu kibuga Washington DC ne balya, okunywa n'okuzina nga bakuba omuziki okuva mu Afrigo band, Rude Boy owa P Square okuva e Nigeria, Chris Evans n'abayimbi abalala.

Abacakaze bano ng'abasinga baabadde bantu abakulu n'abavubuka, baazinye masejjere okutuuka ssaawa musanvu eziragirwa ebiduula okuggalawo mu butongole mu Amerika era abasing baavudde mu kisenge omwabadde ebidongo nga biggaddwawo n'omwenge nga tegukyakkirizibwa kutundibwa ng'essaawa zisusse omusanvu ez'ekiro ne bagenda mu bisenge byabwe eby'enjawulo bye baapangisa mu woteri yemu eyo ne bongera mu maaso ebikujjuko byabwe.

Ebikujjuko bino ebitegekebwa abakulira ekibiina kino okuli David Muwanga ne James Sserumaga nga babeera mu Amerika, byatuumwa Summers Ultimate festivals era bibeerayo nga August aggwako ne biggwa nga September atandika buli mwaka.

 avid uwanga akulira ekibiina kya  ause ames serumaga ne amiiro isha David Muwanga akulira ekibiina kya UNAA Cause, James Sserumaga ne Namiiro Aisha

Babeera n'emisomo gy'ebyenfuna, okusomesa abantu ebikwatagana ku ttaka, ebya bbanka n'ebirala okusobola okwekulaakulanya wabula buli lwaggulo ne bamalira mu biduula okwenazaako ekiwubaalo kye babeera nakyo nga bali ku ku mawanga awatali bantu baabwe.