Abakyala balabuddwa ku kugenda mu masabo: ''Abasawo babasobyako ne babasiiga siriimu"

By Henry Nsubuga

Abakyala balabuddwa ku kugenda mu masabo: ''Abasawo babasobyako ne babasiiga siriimu"

Mknahmad4 350x210

Abakyala balabuddwa okwewala okulimbibwalimbibwa abasawo ab’eyita ab’ekinnansi abacaase ensangi zino nga bano bakola ku balwadde baabwe ebikolwa eby’ensonyi nga bagenze mu masabo gaabwe okubasawula.

Akulira Abasiraamu Abahmadiyya mu Uganda ne Rwanda, Amir Muhammad Ali Kaire ye yakoze okulabula kuno n’agamba nti abakyala bangi bagudde mu butego bw’abasawo b’ekinnansi ne batuuka okubakaka omukwano nga n’abamu bakozesebwa nga beesiimidde nga babawuddiisizza nti mu ngeri eyo eddagala eriba libaweereddwa lwe liba ligenda okubakolera.

Kaire yagambye nti omukyala yandibadde yeesiga Allah kamala byonna alina obusobozi okukola ku bizibu byonna oli by’aba nabyo okusinga okudda mu kwesiga ebitaliimu eby’engeri eyo.

 mina aire owokubiri ku kkono mukyala wa mir ngakwasa ekirabo nekikopo akulira abakyala bahmadiyya mu ampala harifa ubiru ebirabo olwekitundu kye okusinga mu bisinga ku byategekeddwa mir aire ku kkono Amina Kaire (ow'okubiri ku kkono) mukyala wa Amir ng'akwasa ekirabo n'ekikopo akulira abakyala Abahmadiyya mu Kampala, Sharifa Mubiru ebirabo olw'ekitundu kye okusinga mu bisinga ku byategekeddwa. Amir Kaire ku kkono.

Okwogera ebyo, Kaire yabadde aggalawo olukungaana lw’abakyala Abahmadiyya okuva mu Uganda yonna olwatudde ku muzikiti gwabwe e Seeta okumala ennaku ssatu nga lwafundikiddwa ku Ssande.

Mu lukungaana luno, abakyala n’abaana baabwe bayigirizibwa n’okujjukizibwa eddiini, okubuulirirwa ku nsonga ez’enjawulo, okuvuganya mu kusoma Quran, okuzannya emizannyo egy’enjawulo n’ebirala.

Kaire yajjukizza abakyala nti be bavunaanyizibwa ku kuyimirizaawo amaka mu ngeri ez’enjawulo omuli okulaba ng’abaana bakuzibwa n’empisa n’okubayamba okufuuka abantu ab’omugaso mu nsi n’okubeera abakulembeze abalungi.

 bamu ku bakyala abeetabye mu lukungaana luno olwamaze ennaku 3 nga bawera Abamu ku bakyala abeetabye mu lukungaana luno olwamaze ennaku 3 nga bawera.

Amir eya yasabye Abasiraamu Abahmadiyya okufuba okweyisa obulungi mu byalo gye babeera nga kino kye kyokka ekijja okuyamba eddiini eno okwongera okusasaanira mu bantu.

Ate akulira abakyala Abahmadiyya mu Uganda, Zainabu Kigozi yagambye nti abakyala abeetabye mu lukungaana luno babadde bakunukkiriza mu 1000.

Kigozi naye yategeezezza nti okweraguza kibi nnyo ng’abo abakwettanira bafiirwa ebirungi bye bandifunye okuva ewa Allah.

Abakyala beetabye mu kuvuganya okw’enjawulo ng’era abawangizi okuviira ddala ku baana abato baaweereddwa ebirabo.