Minisitule erabudde ku mpeke za 'Septrine' eri aba Siriimu

By Muwanga Kakooza

MINISITULE y’Ebyobulamu erangiridde nti abalina akawuka ka Siriimu nga ssi kangi mu musaayi tebagenda kuddamu kuweebwa mpeke za ‘septrine.’

Unity 350x210

Maneja w’ekitongole ekirwanyisa Siriimu ekya ‘Aids Control Programme’ Dr. Joshua Musinguzi, yagambye nti amakerenda ga ‘septrine’ gavumenti egenda kutandika kugawa baakafuna kawuka ka Siriimu n’abaana abali wansi w’emyaka 15.

Yagambye nti okusalawo kuno kwatuukiddwaako oluvannyuma lw’okukizuula nti abantu abalina akawuka akatono mu musaayi tebeetaaga makerenda gano.Bino baabitegeezezza bannamawulire ku kitebe kya minisitule y’ebyobulamu mu Kampala.

Kyokka abamu ku balwanirira eddembe ly’abalina akawuka baagambye nti kino kiyinza okuba nga kyatuukiddwaako olw’ebbula ly’empeke za ‘septrine’.

Omu ku bo Barbara Kemigisha, yagambye nti abantu abamu amakerenda tebagamira ng’omusawo bw’aba alagidde nga bwe bawulira akalembereza nga babiggyamu enta.

Kyokka Musinguzi yagambye nti Uganda erina empeke za septrine ezimala.

Yagambye nti minisitule esasaanya obuwumbi 41 buli mwaka okugula ‘septrine’ n’agamba nti ensimbi ezo bw’eba ezikendeezezza esobola okuzikozesa ku bintu ebirala ebiyamba abalina akawuka ng’okukakebera n’okubanjaba mu ngeri endala.

Abantu emitwalo ettaano be bafuna akawuka mu Uganda buli mwaka nga bakendedde okuva ku mitwalo 90 emyaka ebiri egiyise. Abantu nga akakadde kamu n’emitwalo musanvu abalina akawuka ne bali ku ddagala. Omugatte gw’abalina akawuka gubalirirwa okuba akakadde kamu n’emitwalo 30.