Bebe Cool be yasasulidde okulongoosebwa emitima basitudde.

By Martin Ndijjo

ABAANA abalwadde b'emitima, Bebe Cool be yasasulidde okulongoosebwa basitudde leero okugenda mu Buyindi.

Baa1 350x210

Libadde ssanyu eri abeng’anda n’abazadde b’abaana abatano omuyimbi Bebe Cool be yasasulidde okugenda e Buyindi okujjanjabwa emitima bwe babadde basitula ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe leero.

Wakati mu ssanyu, abazadde abamu bawuuliddwa nga bagamba nti “Katonda wa buyinza abaana baffe bafunye essuubi ly’okuwona” ate abalala nga beebaza Bebe Cool olw’obuyambi bwa bawadde.

Abaana basatu basitudde ku Ssande ate ababiri basitudde leero era Bebe cool abaddeyo ku kisaawe nga basitula.

 abamu ku baana abasitudde ku sande nga batuuse mu uyindi abamu ku baana abasitudde ku Ssande nga batuuse mu Buyindi

 

Bebe Cool ategeezezza nti okuva e Ntebe bagenda butereevu mu ddwaaliro lya Narayana Health Hospital e Bengarore mu Buyindi era omwana agenda okusooka okulongoosebwa bamukolako nkya (Lwakubiri)

Wiiki ewedde Bebe Cool yakwasizza  ab’ekibiina kya Action for Disadvantaged People (ACDPE) ekikulembeddemu okujjanjaba abaana bano ceeke ya bukadde 60 okukola ku ntambula, eby’ensula n’okulya  kw’abaana ne bazadde babwe.

Abaana abagenda okujjanjabibwa kuliko, Emmy Ogwang 2 okuva e Lira, Jovan Maseruka 13, ava Luweero, Shirati Namuyomba 11, okuva Mukono Nabuti , Anthony Mukyondwa 8, okuva Gayaza ne Rashid Bbosa ow’e Najeera