Eyeesozze akalwaliro okubba asimattuse okuttibwa abasuubuzi

By Moses Lemisa

OMUVUBUKA asimattuse okwokebwa bwe bamukutte lubona ng’abba ssente mu kalwaliro ne bamukuba emiggo, babadde baleeta amafuta bamwokye poliisi n’emutaasa n’emutwala mu ddwaaliro e Mulago ng’ataawa.

Ngabamuteekakukangaaliyapoliisi2 350x210

Omuvubuka ono ataabadde na kimwogerako kyonna baamukwatidde mu kalwaliro ka Mirembe Clinic  agasangibwa mu Mini Triangle Zone mu muluka gwa Makerere I  e Kawempe ku luguudo lw'e Gayaza  ng’abba ssente mu seefu.

Yasoose kulabirizza musawo akolamu nga yeewunguddeko emmanju n'ayingira ng’omulwadde kyokka yafundikidde ali mu sefu  ya ssente.

Wabula yabadde tannamaliriza misoni ye abasuubuzi abakolera okumpi ne Clinic ne bamulaba ekyazeko kumukkakkanako ne bamukuba emigobante era waliwo omuvubuka eyabadde aleese petulooli mu kadomoola bamuteekere omuliro poliisi y’oku Kaleerwe we yatuukidde n’emutaasa n’atwalibwa mu ddwaliro e Mulago ng’embeera mbi.