Omwana abadde afumita banne ekiso nnyina amuwaddeyo eri Poliisi bamuggalire

By Moses Lemisa

OMUZADDE akwasizza poliisi mutabani we emutwale mu bifo ebikuumibwamu abaana ng’amulumiriza okuba n’empisa ezitasaana mu bantu nga ku luno abadde akutte kambe okufumita bato banne.

Kyomuhangingakubamutabani 350x210

Diana Kyomuhangi omutuuze w’e Kawempe mu Ssebina zooni kaabuze kata atte mutabani we ow’emyaka 12 (emyaka gisirikiddwa), gwe yagambye nti amulemeredde n’amukwasa poliisi emutwale mu bifo ebirabirirwamu abaana.

Kyomuhangi okuva mu mbeera kyaddiridde omwana okusoowagana ne bato banne n’anona akambe awaka abafumite kyokka abatuuze ne bamwanguyira ne bamukwata.

Bino byabaddewo ku Mmande akawungeezi mu Kibe zooni.

Akankwasa yagambye nti yabadde agenda kulaba firimu n’asanga abaana ne bamukuba kwe kudda awaka n’anona akambe ke yakakasizza abaserikale nti yabadde akaleese abafumite.

Bino yabyogedde ne Maama we amuwuliriza ekyamunyiizizza n’amugwa mu bulago n’ayagala kumutuga amutte.

Moses Mutebi Nsubuga, ssentebe wa LC II mu muluka gwa Makerere III eyataasizza abaana obutafumitwa yategeezezza nti yabadde alambula kitundu n’omumyuka we ne basanga abaana nga balwanagana ng’omu alina akambe amaliridde ayagala kukafumita banne.

Baagezezzaako okwogera naye mu buntu n’adduka ne bamugoba ne bamukwata.

Kyomuhangi yategeezezza nti omwana yali abeera Rukungiri n’amuggyayo ng’akuba jjajja we gwe yali abeera naye nga mu Kampala abadde yaakamalamu omwezi gumu.

Yagasseeko nti wiiki bbiri eziyise yatwalibwa ku poliisi ng’abbye ssente kyokka ne mu kyalo yavaayo ng’abbye ssente za jjajja we emitwalo 24.

Yagambye nti talina gw’agenda kunenya kuba agezezzaako ng’omuzadde naye omwana agaanye ate kitaabwe tafaayo.

Ronald Mayanja omu ku batuuze abaabaddewo nga Kyomuhangi akwasa poliisi omwana we yategeezezza nti abazadde balina okukomya okubikkirira empisa z’abaana baabwe ensiiwuufu kye yagambye nti ky’ekisinze okusiba obumenyi bw’amateeka mu