Omuyimbi Desire Luzinda alokose

By Martin Ndijjo

Omuyimbi Desire Luzinda alokose akoze n'akabaga kw’asiibulidde obulamu obukadde bw’obutaala bw’abaddemu afulumizza ne alubamu okuli ennyimba ez'ensi z'asembyeyo okuyimba.

D 350x210

OMUYIMBI Desire Luzinda  eyakazibwako erya ‘Kitone’alokose n’akola akabaga kw’asiibulidde obulamu bw’obutaala bw’abaddemu okumala ebbanga.

Agamba teyejjusa by’ayiseemu ne by’akoze kubanga Katonda gw’asinza yamusonyiye era wano we yasinzidde okusaba abantu obutamwogerera mafuukuule, bamwanirize mu bulamu bw’Omwoyo obupya kati bw’alimu.

Bino yabyogeredde ku kabaga akaabadde ku Sky Lounge e Kamwokya ku Mmande ekiro era Desire yasaze keeki gye yagabudde abamu ku bawagizi be abaabaddewo okumusanyukirako okuyingira obulamu obupya.

Okukakasa nti ky’ayogerako akitegeeza ku mukolo gwe gumu Desire yalaze ne alubaamu y’ennyimba gy’atuumye ‘Transition’ okuli ennyimba empya z’amaze ebbanga ng’akolako n’alangirira nti eno ye alubamu y’ennyimba z’ensi gy’asembye okukola nga kati agenda kutandika za ddiini.

Bwe yabuuziddwa oba ebizibu by’azze ayitamu omuli eyali muganzi we Omugieria okulaga ebifaananyi bye ng’ali bwereere oba bye bimuviiriddeko okulokoka,

Desire yazzeemu nti “Mmaze ebbanga nga nfuna enkyukakyuka mu bulamu era nagenda mu maaso g’Omutume Grace Lubega owa Phaneroo ministries ne njatula era kati ndi muweereza mu kkanisa ne mu kkwaaya.”

Ng’ogyeko okuyimba ennyimba z’eddiini, Desire agamba atandiseewo ne kkampeyini y’okubuulira abavubuka okukyusa obulamu bwabwe okulaba nga tebagwa mu nsobi nga zaayiseemu.

Luzinda si ye muyimbi asoose okuvaayo n’ategeeza nti alokose, omwaka oguwedde abayimbi ne bannakatemba omuli; Jose Chameleone, Ronald Mayinja, Bad Black, Kaperere, Eddy Kigere, Qute Kaye n’abalala baddukira ewa Pasita Kayanja nga bagamba balokose olw’ebizibu bye baali batubiddemu.