Aba ‘Togikwatako’ bagenze mu kkooti ey’oku ntikko

By Hannington Nkalubo

ABABAKA ba Palamenti mukaaga bataddeyo okujulira kwabwe mu kkooti ey’oku ntikko mu musango gw’okukola ennongoosereza mu Ssemateeka n’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti kw’akoma okufugira ogwasalibwa nga July 26, 2018 e Mbale.

Pamba 350x210

Ababaka bano okuli; Gerald Kafuleka Karuhanga, Nathan Odur, Mubarack Munyagwa, Allan Ssewanyana, Ibrahim Ssemujju ne Winfred Kiiza, baakulembeddwa bannamateeka baabwe okuli Loodi Meeya Erias Lukwago ne Ladsrus Rwakafuzi eggulo.

Baatutte ebitabo ebinene mwe bajjuzza obujulizi obusoba mu 60 era baabisombyemu emirundi ebiri.

Baataddemu ensonga 24 ze baagala abalamuzi ba kkooti ey’oku ntikko bakoleko oluvannyuma lw’Abalamuzi abataano mu kkooti ya Ssemateeka okulemwa okubamatiza.

ENSONGA ZE BALAMBISE

 • Baagala kkooti etunule ne mu ssente ezaalagibwa okuweebwa bannamateeka eziwera obukadde 20 nti nazo tebaali batuufu.
 • Baagala kkooti ey’oku ntikko etunule mu ngeri Abalamuzi gye bakkiriza omusango okugenda mu maaso ng’abamu ku bakulu be baali baagala okukunya mu kkooti balekeddwa ebbali.
 • lBaagala kkooti ey’oku ntikko enoonyereze ku ngeri ekiteeso ky’omubaka Raphael Magyezi ekikyusa Ssemateeka gye kyassibwa ku lupapula lw’ebiteesebwa mu palamenti nga September 26 2017.
 • Obuyinza bwa Sipiika bwe yakozesa okufulumya ababaka nga tebawuliriziddwa bwasukkirira.
 • Ebiragiro ebyayisibwa poliisi ku babaka naddala nga babagaana okukuba enkiiko byali bimenya mateeka.
 • Emitendera gyonna egyagobererwa mu kukyusa Ssemateeka gyali mikyamu.
 • Bagamba nti, Pulezidenti okussa omukono ku tteeka ly’okukyusa Ssemateeka yakikola mu bukyamu.
 • Beemulugunya ku ssente ezaaweebwa ababaka obukadde 29 nti kwali kubagulirira era bonna bazizzeeyo.
 • Si bamativu ku kyakolebwa nti kwali kumenya Ssemateeka kubanga ennyingo eyo tekwatibwaako yasibibwa.
 • Okuyiwa amagye mu Palamenti ne poliisi esukkiridde kyali kimenya mateeka.
 • Akavuyo n’olutalo olwali mu palamenti lwali terusobozesa babaka kuyisa tteeka eryo.
 • Embeera eyaliwo ku babaka abaali bagenda okukuba enkiiko nga beebuuza ku balonzi ne bakubwa yali tesobozesa kuyisa tteeka eryo.
 • Kkooti ya Ssemateeka teyasobola kuyita Sipiika mu kkooti kuginnyonnyola obuyinza bwe we bukoma obwamutuusa okukaliga ababaka nga tebawuliriziddwa.
 • Baagala kkooti ey’oku ntikko etunule mu ngeri Sipiika Rebecca Kadaga gy’ayinza okuba nga naye yeenyigira mu mbeera emenya amateeka.
 • Baagala kkooti erage engeri Sipiika wa palamenti, omumyuka we, minisita w’amateeka, akakiiko akakola ku mateeka ssaako omubaka Raphael Magyezi bonna abaalekebwa ebbali.
 • Basaba okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti n’obuwaayiro obwayisibwa busazibwemu. Entuumu y’ebitabo ebijjuddemu ensonga zaabwe baazitwalidde omumyuka wa Ssaabawandiisi wa kkooti ey’oku ntikko, Godfrey Opifein Angwadia eggulo.