Ab’ekika ky’Engabi bagaanyi omukulu w’ekika eyalondeddwa ne bawera okumutwala mu kkooti

By Paddy Bukenya

Ssaabalangira Joseph Kasobya ategeezezza nti ye yalina okusumika Nsamba omuggya nga bwe kirambikibwa mu buwangwa kyokka ne bamugoba ku mukolo ne bayiwawo abaserikale olwo ne bateekako ssaabalangira ow’ekicupuli eyakola omukolo ogwo mu mankwentu.

Lubegamukaakungaayogeramulukungaanalwabweebuwanadakumbugayekika3 350x210

ABEKIKA ky’e Ngabi basimbidde ekkuuli omukulu w’ekika kyabwe eyatuuzibwa ku mudumu gw’emmundu ne bawera nti baakugenda mu kkooti ebasalirewo.

Bakulembeddwaamu ab’omutuba omukulu mu kika  ogwa Muyomba oguvaamu omukulu w’ekika ky’e Ngabi nga baakunganidde ku mbuga yaabwe e Buwanda mu ggombolola y’e Buwama mu Mpigi ne bawera nti baakugenda mu kkooti esalewo eggoye ku mukulu w’ekika kyabwe, Lozio Magandaazi gwe bagamba nti yatuuzibwa mu bukyamu okusinziira ku bulombolombo bw’ekika n’obuwangwa.

Bano nga bakulembeddwaamu Ssaabalangira w’omutuba gwa Muyomba, Joseph Kasobya baategeezezza nti tebajja kukkiriza Ssaalongo kubasikira kubanga kimenya mateeka mu buwangwa.

Bagattako nti omukulu w’ekika eyaliko, Joseph Kamoga Nsamba yalaamira mutabani we (Magandaazi) okumusikira wabula si kusikira ntebe ya Nsamba kubanga waliwo emitendera egigobererwa okulonda Nsamba ekitaakolebwa era ne bawera nti singa kooti ya Kisekwa eremererwa okusala omusango gwabwe baakugenda mu kkooti amateeka gasalewo.

Baategeezezza nti si baakwetemamu ku nsonga eno kubanga ekika kiyinza okusaanawo olw’omukulu w’ekika gwe baabakakaatikako mu bukyamu  kubanga bakimanyi bulungi nti eby’obugagga by’ekika Magandaazi ayagala kubiteeka mu mikono gye ng’omusika wa Nsamba ng’ate yasikira kitaawe so si bya bugagga bya kika.

Samuel Lubega Mukaaku ategeezezza nti ekyali emabega w’okulemesa ab’omutuba gwa Muyomba okwenyigira mu mikolo g’yokutuuza Nsamba be b’oludda lwa Magandaazi okuba mu kakodyo k’okubba ettaka era ne baleeta ekiraamo ky’omugenzi nga kiraga nti ettaka ly’ekika lyonna yaligabidde abaana be ng’ate tekikkirizibwa.

Ssaabalangira Joseph Kasobya ategeezezza nti ye yalina okusumika Nsamba omuggya nga bwe kirambikibwa mu buwangwa kyokka ne bamugoba ku mukolo ne bayiwawo abaserikale olwo ne bateekako ssaabalangira ow’ekicupuli eyakola omukolo ogwo mu mankwentu.

Ayongeddeko nti omusango gwabwe guli Mengo mu Kkooti ya Kisekwa kyokka n’agamba nti abakaayanira obwa Nsamba balina ebigendererwa bya kubba bya bugagga naddala ettaka erya yiika 1750 lye babadde batandise okutunda kyokka n’awera nti baakubalemesa era n’asaba abeekika okukwatira wamu batandikewo pulojekiti gye baafunamu ssente bakulaakulanye ekika.

Ssaalongo Lozio Magandaazi yatuuzibwa ku bukulu bw’ekika ky’e Ngabi nga September 13, 2017  wakati mu byokwerinda eby’amaanyi oluvannyuma lwa kitaawe Joseph Kamoga eyali omukulu w’ekika okufa.