Bukedde Ttivvi ekuleetedde akazannyo akapya ‘I Will Never Say Goodbye’

By Martin Ndijjo

Bukedde Ttivvi ekuleetedde akazannyo akapya ‘I Will Never Say Goodbye’akakwata ku mbeera z'abavubuka

Kaz 350x210

OMULABI wa Bukedde Tv1 bakuleetedde ekipya. sikirala kazannyo ‘I Will Never Say Goodbye’ akakwata ku mbeera y’abavubuka.

Katandika ku Lwamukaaga luno August 8 ku ssaawa 2:30  ez’ekiro era gwe anyumirwa obuzannyo bw’oku Ttiivi kano tosanye ku kasuubwa kubanga kanyuvu..

Kazannyo kaba Philippine era nga Vj Kiwa Humble Servant (Steven Kevin Kiwanuka) kafulu mu kwogera firimu n’obuzannyo yakakutemu okukakutuusako mu Luganda.

Kagenda kuba kalagibwa buli Lwamukaaga ssaawa 2:30 ez’ekiro okutuuka 3:30 ez’ekiro ne ku Ssande ssaawa 2:00ez’ekiro okutuuka 3:00 ez’ekiro.

Ng’anyonyola ebiri mu kazannyo kano, VJ Kiwa ategeezezza nti okusinga kakwata ku bulamu bwa bavubuka.

Kalaaga abavubuka kye beetaga okukola okubeera obulungi mu bulamu ng’engeri gye bayinza okweyisamu mu nsonga z’omukwano n’abagalwa be bafunye.

“Mugenda kulaba kye bayita omukwano n’engeri omuvubuka gye yeeyisamu mu bulamu. Kano kakutuusiddwako si mulala nze kenyini owuuwo, omuntu w’abantu Vj Kiwa Humble Servant kati nno lindirira enkya …”  Vj kiwa bwe yagambye.

Akazannyo kano kazannyibwa Jericho Rosales eyakuzannyira ‘The Promise’ eyakazibwako ‘Inna’ ne Arci Munoz.