Abaakwatibwa mu kwekalakaasa ku Bobi Wine ne Zaake bazziddwa e Luzira

By Musasi wa Bukedde

Bano be bamu ku bavubuka abaakwatibwa nga August 13 mu kwekalakaasa okwali mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo ne baggulwako omusango gw’okukuba enkung’aana mu bukyamu ssaako okukuma mu bantu omuliro.

Bobi1 350x210

ABAVUBUKA abaakwatibwa mu kwekalakaasa abantu bwe baali bawakanya okukwatibwa kw’ababaka Bobi Wine ne Zaake bazziddwayo mu kkomera e Luzira.

Bano ye Nicholas Kawagga, Muhamad Nsubuga, Abu Kalungi, Muhamad Walulya ne Isael Gulume. Bano bazziddwa mu kkomera oluvannyuma lw’omulamuzi akola ku musango gwabwe obutabeerawo mu kkooti kuwulira kusaba kwabwe okw’okweyimirirwa.

Omulamuzi Robert  Mukanza owa kkooti ya Buganda Road  akola ku musango gwabwe yali yabasuubizza okuwulira okusaba kwabwe okw’okweyimirira wabula teyalabiseeko mu kkooti olwo Omulamuzi Esther Nahirya n’alagira bazzibwe e Luzira okutuusa nga September 18, lwe banaakomezebwawo mu kkooti.

Bano be bamu ku bavubuka abaakwatibwa nga August 13 mu kwekalakaasa okwali mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo ne baggulwako omusango gw’okukuba enkung’aana mu bukyamu ssaako okukuma mu bantu omuliro.

Emisango gyonna baagyegaana bwe batyo ne basindikibwa e Luzira ng’oludda oluwaabi bwe lumaliriza okunoonyereza kwalwo.