Omuchina eyavumye Uhuru Kenyata ne Bannakenya bamugobye

By Musasi wa Bukedde

OMUSAJJA Omuchina eyayise Pulezidenti wa Kenya, Uhuru Kinyata ne bannansi banne (Bannakenya) enkima gavumenti yaayo ebimusibiddeko engugu n'azzizza ewaabwe e China nga teyeesiikidde na kanyeebwa.

Dmabgpix0aa5hah 350x210

OMUSAJJA Omuchina eyayise Pulezidenti wa Kenya, Uhuru Kenyata ne bannansi banne (Bannakenya) enkima gavumenti yaayo ebimusibiddeko engugu n'azzizza ewaabwe e China nga teyeesiikidde na kanyeebwa.

Kyokkka Bannakenya bangi bayomba nga bagamba nti Omuchina ono Liu Jiaqi yandibadde awerenemba n’omusango guno n’asibwa sso ssi kugobwa bugobwa mu Kenya kuba abaddugavu abazza emisango e China nabo bangi basibwabusibwa olumu n’okussibwa ku kalabba.

Ebiwandiiko ebimukkiriza okukolera e Kenya byamuggyiddwaako n'atikkibwa ku nnyonyi n'azzibwa ewaabwe.

Ebizibu by’omusajja ono alina kkampuni etunda pikipiki e Kenya byatandise omusajja omu bwe yamukutte ku katambi ng’avuma Bannakenya nti ‘’tabaagala, basiru, baavu, bawunya, era baddugavu balinga enkima.’’

N’ayongerako nti; ‘Bwe ng'amba Bannakenya ntwaliramu ne Uhuru Kenyata (Pulezidenti wammwe). Sirina kinene kye njagala mu nsi eno (Kenya) okuggyako ssente,’’ bwe yagambye.

Akatambi kalabika kaakwatibwa ng’Omuchina atiisatiisa okugoba omukozi Munnakenya era bwe yamubuuzizza lwaki agobwa n’amuddamu nti kubanga ‘’Munnakenya’’

Kyokka omwogezi w’ekitebe kya China mu Kenya Zhang Gang, yagambye nti endowooza y’Omuchina ono ssi y’endowooza y’abantu bonna abava e China nga bali Kenya.

N’agamba nti eyasobezza yabadde yeetondedde Munnakenya gwe yavumye. Kyokka ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuyingiza n’okufulumya abantu mu Kenya kyakakasizza nti yagobeddwaayo.