Ziziino ensonga lwaki Stecia avudde mu Golden band

By Martin Ndijjo

Stecia Mayanja yeekyaye n’ava mu Golden Band. bakama be bamuddizza omuliro

Stecia 350x210

OMUYIMBI Hajjati Faridah Stecia Mayanja avudde mu kibiina kya Golden bandi n’awa ensonga okuli; obukyayi, enkwe n’obutaagaliza nti bye bimu ku bimugobye mu bandi.

Okukakasa nti avudde mu Stecia yawandiikidde bakama be ne bakozi banne ebbaluwa mwe yatadde ensonga eziwerako era bano ebbaluwa yazibaweerezza ku ssiimu zabwe.

Bino okubawo kyaddiridde ekivvulu kya Stecia ekyabadde mu disitulikiti y’e Pallisa okusazibwamu ne bamulagira n’okuddiza abantu abaabadde bamaze okuyingira ssente ze baasasudde. Yabadde yakasolooza 300,000/- kyokka nga ayini y’abayingira yabadde mpanvu.

Kino kyasaanudde Stecia kwe kujjukiza bakama be bye bazze bamuyisaamu nga agamba nti “Neewaddeyo era neefiirizza bingi okulaba ng’ekibiina kyaffe kitambula bulungi naye gye nkomye okulaga omutima gw’ekibiina gye mukomye okundaga obukyayi ’obutanjagaliza.”

Agamba ku bivvulu bye bingi badayirekita abamu babadde beebulankanya ne batayimba kyokka

ku mulundi guno kyamuyitiriddeko kubanga yabadde amazzen’okusoolooza ku ssente. Stecia agamba puleesa zaamukubye ne bamuddusa ne mu ddwaaliro ng’ali bubi era wano we

Yasinzidde okugamba nti tagenda kukubwa puleesa zinaamutta atuuke okuleka abaana be n’olwekyo kaave mu bandi kyokka ono yasiimye bakama be okumulera n’okumuwa omukisa okuyimba nabo.

Nkola ya bayimbi mu bandi eno okutalaaga ebitundu ne bakola ebivvulu ne bagabana ennaku oba ebifo era ku mulundi guno baabadde mu buvanjuba bwa Uganda.

usa kavumaMusa kavuma

 

EBYA STECIA BYA BULIMBA- KAVUMA

Wadde Stecia agamba okusaazamu ekivvulu ky’e Pallisi ye ntikko y’ebizibu enkumu by’ayiseemu mu bbandi, Musa Kavuma (KT) omu ku bakulembeze mu bbandi eno agamba ebyogerwa Stecia abuuzabuuza era sibituufu alina nsonga ddala emuggye mu bandi gy’atayagala kwogera.

“Oluvannyuma lw’okulaba ng’ebivvulu bye tubadde tukola tebijjumbirwa olw’enkuba etonnya ate nga n’abantu kirabika baavu tebalina ssente, twasazeewo nga bandi okusazaamu ebivvulu ebibadde bisigaddeyo okutandikira e Paliisa, Bugiri, Busia, Mbale n’awalala.

Ku bivvulu bino kubaddeko ekyange (Kavuma), ekya Kusasira n’ekya Nantume naye ffe nga tetwanyiize kutuuka kuva mu Kibiina?

Nze ndowooza Stecia akooye olw’ebbanga eddene ly’amaze ng’ayimba kirabika ayagala kugenda kukola birala.”

Yagasseeko nti mu bbanga ery’emyaka 15 gye tumaze nga tukola ne Stecia era ekivuulu ekimu oba ebibiri bye bimugoba mu kibiina?

Mu bbaluwa ya Stecia era agamba nti ku lw’ekibiina yayingira ne mu bufumbo bwa Abaasi Mubiru bwe yali tayagala kyokka ku nsonga eno Kavuma amwanukudde nti “Stecia alimba muntu mukulu eyeesalirawo era ffe yatwanjulira bwanjulizi musajja.”

STECIA TANNAVA MU KIBIINA- SSEKAMATTE

Wadde Grace Ssekamatte omu ku bakulembeze mu bandi yakakasizza okufuna

ebbaluwa ya Stecia, ye agamba nti tannaba kukkiriza nti avudde mu kibiina era bino byonna abiyise busungu.

“Eno ebbaluwa ndowooza agiwandiisizza busungu naye katumuweemu obudde bw’anamala okukkakkana tulabe ekiddako kubanga ffe be yawandiikidde tetunnaba kwogerako naye.”

Ssekamatte era yannyonyodde nti okusazaamu ekivvulu ky’e Paliisa kyavudde ku bayimbi

Mesarh Ssemakula (omukosefu) ne Ronald Mayinja eyabadde n’olugendo lw’e South Africa obutabaawo ate ng’erimu ku mateeka g’ekibiina agabafuga ligamba nti singa abayimbi babiri tebabeerawo ku kivvulu kijja kusazibwangamu kubanga kuno kuba kubba bawagizi.

 ashir ogere Bashir Bogere

 

BABIYINGIZZAAMU EBYA LAAVU

Ezimu ku nsonda mu Kibiina, ekya Stecia okuva mu Golden bakitadde ku Bashir Bogere(waggulu) omu ku bamaneja mu bandi eno eyasoose okuvaamu, gwe bagamba nti amaze ebbanga ng’apepeya ne Stecia era kirabika ye yamusigudde naye aveemu.

Wadde Stecia yagaanyi okwogera ku nsonga zino, kigambibwa nti laavu ye ne bba Abaasi Mubiru gwe yawoowebwa naye yaggwaawo oluvannyuma lwa Abaasi okulemera ebweru (ono kigambibwa yafunirayo ebizibu) era ennaku zino Stecia abadde akukuta na Bogere.

Wabula Bogere eby’okubeera mu laavu ne Stecia yabyegaanye n’eby’okuva mu kibiina n’abyegaana.

STECIA AGENDA CANADA

Okufaananako Doreen Mutibwa ne Michael Kinene abaasigala e Bungereza, ensonda endala mu kibiina zategeezezza nti Stecia naye agenda Canada era yafuna dda empapula ezimukkiriza kubeerayo.

Musa Kavuma bwe yabuuziddwa ku nsonga eno yagambye nti Stecia emabegako yamutegeezaako nti yafuna visa ya Canada ya myaka 10 nga kisoboka okuba nga nakyo kiri

mu pulaani ye okugenda.