Catherine Kusasira asambazze eby'okuva mu Golden band

By Martin Ndijjo

Omuyimbi Catherine Kusasira asambazze ebiyiting'ana nti yavudde mu kibiina kya Golden agamba akatambi akasaasaanye kakadde

Kusa 350x210

Omuyimbi Catherine Kusasira asambazze ebiyiting'ana nti yavudde mu kibiina kya Golden Bandi.

Eggulo waliwo akatambi omuli amaloboozi ga Kusasira ng’ayogera bwavudde mu kibiina kya Golden akasaasaanye ku mikutu ekintu ekyakanze abawagizi b’ekibiina ne batandika okwebuuza ekigudde mu kibiina anti bino okubaawo wabadde wakayita olunaku lumu nga Stecia Mayanja abaabulidde.

Mu katambi kano Kusasira awuulikika nga agamba nti “ okuva ne leero sikyali memba wa Golden bandi ekibiina nkivuddemu kubanga kivudde ku mulamwa. bamemba abamu tebakyayagala kukola kati muli muntu wa ddembe agende akole kyayagala. abagenda mu bizigo tugende abagenda mu by’obufuzi mugende n’abagenda mu bulimi namwe mugende.”  

Wabula Kusasira eby’okuva mu kibiina ebiwakanyizza agamba akatambi akasaasaanye kakadde era tamanyi kigendererwa kya muntu eyakafulumizza mu kiseera kino.

“kituufu amaloboozi gange naye akatambi kakadde. Ebyo nabyogera mabbegako mu lukiiko olumu lwe twali tutuddemu nga bamemba b’ekibiina okugonjola obumulumulu obwali buzeewo era okuvaayo bwentyo naali njagala wabewo ekikolebwa mu bwangu okulaba nga bamemba tusituukiramu buli omu okukola obuvunanyizibwa.”

Agasseko nti “Ndi musanyufu kuba oluvanyuma lw’okwogera la nga bino mbyogedde emirimu gyaddamu okutambula obulungi  bwe emirimu guddemu okutambula obulungi.”

Bwe yabuuziddwa ku kya Stecia okuva mu kibiina agambye nti buli muntu abeera n'ebigendererwa bye.

“Stecia ayinza okuba ng’alina kye yalabye kyayinza okukola ekirala naye tukyamwetaaga banda kuba tukoze naye ebbanga ddene era nsuubira okusalawo kweyakoze waliwo omuntu eyamuwadde amagezi ago so ssi ye nga Stecia gwemanyi.”