Omulambo gwa Kirumira guggyiddwa mu ddwaaliro e Mulago: Mukazi we awanjagidde Gavumenti okukoma ku batemu

By Henry Kasomoko Henry Kasomoko

Omulambo gwa Kirumira guggyiddwa mu ddwaaliro e Mulago: Mukazi we awanjagidde Gavumenti okukoma ku batemu

Mortuary3 350x210

Omulambo gwa Kirumira guggyiddwa mu ddwaaliro e Mulago wakati mu biwoobe n'okwazirana.

Mukazi we Mariam Kirumira awanjagidde Gavumenti okufaayo okukola okunoonyereza efyulumye lipooti ku nfa ya bba obutafaananako balala abazze battibwa lipooti ne ku ngeri gye battiddwaamu ne zitafuluma.

Asabye Gavumenti nti eveeyo ekomye ettemu erikudde ejjembe mu Uganda kuba abantu ba wansi bangi banyigirizibwa nga tewali ayamba. 

Oluggyiddwa e Mulago omulambo gutwaliddwa butereevu ku muzikiti gwa Kampalamukadde ne gunaggyibwa gutwalibwe mu makaage e Gogonya oluvannyuma gutwalibwe e Mpambire - Mpigi gy'agenda okuziikibwa leero ku Ssande.

alt=''

 

 

 

 

alt=''

 

alt=''