Omugole wa Muhammadi Kamoga amuzaalidde eddenzi.

By Martin Ndijjo

Muhammadi Kamoga omutunzi w’ettaka n’amayumba (Kamoga Property Consultants) essanyu ly’alina likirako lya mwoki wa gonja omugole amuzaalidde eddenzi.

Kamo 350x210

 

Muhammadi Kamoga omutunzi w’ettaka n’amayumba (Kamoga Property Consultants) essanyu ly’alina likirako lya mwoki wa gonja.

Mukyala we Aminah Najjemba Kamoga gwasembyeyo okukuba embaga amuzaalidde eddenzi ne yewaana nti “wuuno omwana w’embaga bulijjo gwe mumbuuza.”

azaalidde mu ddwaaliro ly'e Kibuli era omwana yamutuumye Sulaiman Kamoga.

Bakira amusitudde nga bwagamba nti  essanyu ly’omuzadde omukyala yenna kugenda mu sannya nadda ng’omwana we mulamu ate nga naye mulamu bulungi nga Aminah.

Bwabuuziddwa ku muwendo gw’abaana kati b’alina azzeemu kimu nti Omusajja omuganda tabalirwa baana.

Kyokko waliwo abamukubye olwali nti anyiikiridde omulanga gwa Nadduli