Pikipiki emulondodde okumala wiiki bbiri

By Musasi wa Bukedde

KIRUMIRA nga tannattibwa, waliwo pikipiki ebadde emulondoola okumala wiiki bbiri. Era ensonga n’azitegeezaako aba famire, aba LC ne mikwano gye.

Kiru 350x210

Ennaku ssatu ezaakumbedde Olwomukaaga lwe baamusse, yagisanga emuteeze okumpi n’ekifo we baamuttidde.

Kw’olwo yali atutte mmotoka mu paakingi eriraanye we baamuttidde. Emmotoka abadde agisuza mu paakingi.

Nnamwandu Mariam Kirumira yannyonnyodde embeera gye babadde batambuliramu okumala wiiki nga bbiri alyoke afe ng’abateeberezebwa okumutta babadde bamutiisatiisa nga bamukubira essimu n’okuweereza obubaka.

Abadde ava awaka n’agenda ku luguudo mu mikwano gye naye ng’atambulira mu kutya.

Wiiki ezo bbiri tubadde ku bunkeke. Olumu pikipiki yagenda emuvaako emabega n’atya nnyo kubanga pikipiki yali nnene ate ng’agivuga ayambadde ekikooti talabika bulungi. Kirumira yatya n’aweta emmotoka n’addayo emabega gy’ava, olwo pikipiki ne yeeyongerayo.

Mukazi we yagambye nti emirundi mingi abadde asanga abasajja abali ku pikipiki n’abeekengera kyokka ekirungi okutuuka ewuwe balina amakubo agenjawulo. Abadde agakyusakyusa.

Oluusi abadde asanga abantu n’abeekengera n’asooka akyama mu maka g’abantu. Agamba nti bba lwe yafa, yakeera ku makya n’ansiibula. Wabula nga mmulaba alina ekimweraliikiriza.

Waliwo omuvubuka (amannya galekeddwa) eyagambye nti ku ssaawa nga 3:00 ez’enkya ku Lwomukaaga, yalabye abavubuka abaabadde ku pikipiki ennene nga bambuka bwe bakkirira okuva ku luguudo olunene e Bulenga ne bakwata olugenda ewa Kirumira. Era Kirumira bwe yafuluma ku ssaawa nga 5:00 ez’enkya n’ayambuka nabo ne bamugoberera.

Omuvubuka yagambye twabadde tulowooza nti osanga bamuwadde abakuumi abambadde engoye ezaabulijjo kyokka twagenze okuwulira ekiro nti bamusse.