Kirumira abadde asooka kulaalika b’atwalako

By Ponsiano Nsimbi

OMUGENZI Muhammad Kirumira abadde asooka kulabula buli atuula mu mmotoka ye. Era bangi ababadde bamusaba okubatwalako ng’asooka kubagamba nti, “bw’oba totya kufa tuula nkutwaleko.’’

131736705311775037218421032422864993791094n 350x210

Abamu ku mikwano gya Kirumira kw’ossa aba famire baategeezezza nti emmotoka ya Kirumira babadde bagitya kuba abadde alondoolwa era nga ne Kirumira ye nnyini akibagamba nti n’olumu awalirizibwa okugisimba ebbali w’ekkubo n’alinnya bodaboda oba takisi okweyongerayo gy’abeera alaga.

Mikwano gye n’abooluganda bategeezezza nti, Kirumira abadde atambulira mu kutya era ng’akyogera lunye nti essaawa yonna attibwa abantu abaludde nga bamulondoola buli w’adda.

Bannyonyodde nti abadde talina buzibu kutwalako muntu yenna mu mmotoka ye wabula ng’asooka kukubuuza oba totya kufa.

Jamirah Nagingo yategeezezza nti Kirumira abadde takigamba baaluganda bokka wabula ne mikwano gye kyokka ng’abamu babiyita byakusaaga era ng’abaabimanyira, ne bw’abyogera tebafaayo.

Alex Kalungi yagambye okuva Kirumirwa bwe yamugamba nti oba totya kufa ng’otuula nkutwaleko abadde atiira ddala okutuula mu mmotoka ye.

Yayongeddeko nti olw’omukwano Kirumira gw’abadde nagwo eri abantu, abasinga ebigambo bino babadde babigumira era nga tebatya kutuula mu mmotoka ye yadde azze akyogera lwatu nti waliwo abamulondoola