Abapoliisi bazzeeyo ne baziika ku Kirumira: Afande weeraba

By Musasi wa Bukedde

ABAPOLIISI bazzeeyo ku Mmande ne bayiwa ettaka ku ntaana y’eyali DPC w’e Buyende era abadde muserikale munnaabwe ASP Muhammad Kirumira eyakubiddwa amasasi mu bitundu by’e Bulenga gy’abadde asula.

Sayo 350x210

Abamu ku bakungubazi abeetabye mu kuziika Kirumira ku Ssande ku biggya e Mpambire ku lw’e Masaka, baagaanyi abakungu ba Gavumenti ne poliisi okwabadde omwogezi waayo, SSP Emilian Kayima ne minisita w’ensonga z’omunda Gen. Jeje Odongo.

Baabatute entyagi olwo n’abaserikale abalala ne bavaawo mu lumbe era y’ensonga lwaki Kirumira tebaamukubidde na mizinga ng’ofiisa wa poliisi abadde ow’eddaala erya waggulu (amayinja asatu).

Abaserikale abazzeeyo okuziika ewa Kirumira eggulo baakulembeddwaamu DPC w’e Mpigi SP Diana Nyamisango.

Baakedde wa kitaawe wa Kirumira Abubaker Kawooya Mulaalo ne bamukubagiza era ne bamusaba abawerekere ku ntaana basobole okutuukiriza omukolo gw’okuziika ku munnaabwe kubanga bo babadde tebamulinaako mutawaana.

TAATA WA KIRUMIRA YEETONZE

Taata wa Kirumira yasiimye omutima DPC Nyamisango ne banne gwe bamulaze n’agamba nti akimanyi nti engeri gy’abadde azaala omuserikale n’abapoliisi abalala bonna baana be.

Yasinzidde wano ne yeetondera SSP Kayima ne minisita Gen. Odongo olw’ebikolwa bye baabatuusizzaako.

Yagambye nti, “Nze ndi musajja muzadde era sirowooza nti Kirumira alina kye yali ayogedde ekibi ku Gen JeJe Odongo oba Kayima. Saawagidde kya bavubuka ku bakolako ffujjo.

Nneetonda ku lw’abaakikoze bonna,” Kawooya bwe yategeezezza.

Yagambye nti bino okubaawo, teyabaddewo kubanga yabadde agenze kunona mulambo gwa mwana we era teyandikkirizza bikolwa bino kubatuukako.

Yayongeddeko nti n’akulira abakozi mu poliisi AIGP Moses Balimwoyo yamukubidde ku ssimu eggulo (Mmande) n’amusaba agende ku poliisi e Naggulu anone amabugo n’obubaka obulala bwe babadde bategese okumukubagiza kubanga abatuuze babalemesezza okubumutuusaako.

Kawooya yagambye nti mutabani we obutamukubira mizinga kyavudde ku ffujjo ly’abantu naye nga poliisi ebikola byonna yabadde ebireese.