Kirumira Muhammad Mwoyo gwa ggwanga: Baali bategese kumutta Lwakutaano

By Musasi wa Bukedde

Ab’ebyokwerinda era bagamba nti, bye bakung'aanyizza biraga nti abasse Kirumira baali bategese kukikola ku Lwakutaano wabula n’abatebuka.

Tta 350x210

Kigambibwa nti omusajja ayogerwaako eyali agumbye ku nkulungo y’e Busega alabika yali attaanya 'misoni' kubanga mu kiseera we yabeerera ku nkulungo, ne Kirumira yava ewuwe n’ayita mu kifo ekyo.

Kigambibwa nti omusajja ono alabika yali waakulondoola Kirumira okuva ku nkulungo bamukubire amasasi ku Northern Bypass. Kigambibwa nti Kirumira naye yali asudde enkessi ezaamubuulira ku musajja ono kubanga bwe yatuuka ku nkulungo e Busega teyeeyongerayo, yaweta n’avuga emmotoka n’addayo ewuwe e Bulenga.

Omusajja ono abadde kabwa na ngo ne Kirumira era wakati mu kwewerera Kirumira, abamu ku baserikale baakimanyaako era bandiba nga be baalabudde Kirumira ku Lwokutaano asazeemu olugendo n’akoma e Busega n’ateeyongerayo.

Kiteeberezebwa nti pulaani y’okumutta yali yaakutuukirizibwa ku Lwakutaano akawungeezi nga bwe kyali ku Ibrahim Abiriga (Yattibwa Lwakutaano akawungeezi nga June 8, 2018) ne Andrew Felix Kaweesi eyattibwa ku Lwokutaano nga March 17, 2017.

Kigambibwa nti Olwokutaano, abazigu balulinamu ekyama kubanga ab’Ebyokwerinda lwe bakuba pulaani eneebayisa mu wiikendi.

Enkiiko z’Ebyokwerinda ezisinga batera kuzikola Lwakutaano mu biseera by’enkya ate olw’eggulo ne bawummula, okunoonya ku ssente oba abaserikale okutambula okugenda gye banaakolera ku wiikendi.

Abasse Kirumira, kigambibwa nti baasooka kumwetoloola ne bamanya entambula ze zonna.

Abadde afuna essimu z’atategeera kye yava asalawo okukyusa ennamba y’essimu.

Kyokka ennamba gye yabadde yaakafuna nayo baagitegedde kubanga ku lunaku lwe yatemuddwa baasoose kumukubira era ne yeewuunya nnyo kubanga essimu ye yabadde tennamanyika bantu balala.

Ku Lwokutaano, Kirumira bwe yakoma e Busega n’addayo e Bulenga yalambula ekifo kye we bookera ebyuma bya 'wolodingi' n’atwala emmotoka mu paakingi n’addayo ewuwe. Ekyo abadde tatera kukikola okutwala emmotoka mu paakingi emisana.

Bwe yaddayo ewuwe teyava waka era kirowoozebwa nti kye kyamuwonya kubanga ku lunaku lwe lumu emu ku pikipiki ezaakozeseddwa okumutemula yalabibwa nga yeetawula mu kitundu nga kiteeberezebwa nti yali eyagala kumanya Kirumira we yali.

Ekyo kyakolebwa kubanga Kirumira bw’abeera ku kyalo atambula mu bifo ebyanjawulo ng’alamusa ku batuuze n’okukuba olwali mu kabuga k’e Bulenga.

Kirowoozebwa nti pikipiki yali egezaako kumanya waali. Kigambibwa nti abatemu babadde bamuliimisa nnyo ku kifo w’asuza emmotoka ekya Danny’s Washing Bay and Parking e Bulenga era okumpi n’ekifo ekyo we baamuttidde.

Amasasi baagamukubye ng’asimbye emmotoka mu mmita nga 200 okuva ku kifo ekyo.

Bambega abanoonyereza bagattako nti, ng’ogyeeko abaamukuba amasasi ng’asimbye mmotoka ye ku mabbali g’oluguudo oluva e Mityana okudda e Kampala, waliwo abantu abalala abaali balinze mu kitundu kye kimu okukakasa nti misoni y’okumutta etuukirira.

Abebyokwerinda era bagamba nti batandise okunoonyereza ku bubaka abatemu bwe baasooka okuweereza ku ssimu ya Kirumira nga bamulaalika okumutta essaawa yonna.

Newankubadde omukazi gwe yattiddwa naye kigambibwa nti yabadde mukwano gwe, bambega bagamba nti naye bagenda kumunoonyerezaako bazuule oba teyali mu lukwe n’abatemu.