Obujulizi ku baatemudde Kirumira buubuno

By Musasi wa Bukedde

EYABADDEWO ng’abazigu batemula ASP Muhammad Kirumira attottoledde ab’ebyokwerinda byonna bye yalaba n’agamba nti bisobola okuyambako okukwata abatemu. Atenda obukugu n’obumalirivu bye baakozesezza nga bitiisa.

Kirumira1 350x210

Omusajja ono (amannya gasirikiddwa) yabadde mmita nga 10 okuva we baatemulidde Kirumira. Wano we bookera ebyuma (wolodingi) eby’enzigi n’amadirisa.

Yagambye nti, baabaddewo basatu ku kayumba ne munne n’omukuumi asula mu kayumba ako.

Ayongerako nti ku mabbali g’oluguudo waabaddewo emmotoka eyimiridde era baalabye n’omukyala ng’atambula agituukako n’agiyingira.

Amataala gaabadde gaaka bulungi mu kitundu kyonna.

Ekyabakanze, omuwala yabadde yaakatuula mu mmotoka, pikipiki n’etuuka ng’eriko abasajja babiri.

Eyabadde avuga yabadde mu kkanzu enjeru ate nga gw’aweese ng’ali mu ki kabuuti ekiddugavu ng’asibye ne ku mutwe.

Yategeezezza nti, olwatuuse ku mmotoka eno, ne bayimiriza pikipiki eyalabise nga ya mulembe ddala ate nga mpya naye nga tekuli nnamba naye ng’eyagala okwefaanaanyirizaamu nga zino eza poliisi.

Pikipiki baagipaakinze emabega w’emmotoka era eyabadde mu kkanzu n’agenda butereevu mu maaso g’emmotoka ku boneti ne yeefuula agibikkula nga bw’akanika.

Munne olwalabye oli ng’atandise okwefuula akanika n’atandika okusasira emmotoka amasasi nga yatandikidde ku mupiira ogw’emabega.

Ekyewuunyisa, yasembedde ku luggi lwa ddereeva n’ayongera okukuba amasasi munda nga munne ali mu maaso ku boneti yeefuula aliko by’akebera. Ono bwe yamalirizza.

Ow’ekkanzu yavudde ku boneti, n’ajja n’afunya ku kkanzu ye n’alinnya pikipiki n’assaamu ekisumuluzo, oli n’abuukira.

Baavuze badda Busega kyokka baabadde basimbula ne wabaawo owa booda eyabadde ayita mu kkubo lye limu kyokka bano olwalabye amataala ga pikipiki endala ne basasira amasasi mu bbanga era ono eyabadde ajja bodaboda ye yagisudde awo n’aduma.

Oluvannyuma yakomyewo n’aggyawo pikipiki ng’abatemu bagenze era abamu baasoose kulowooza nti ono y’omu ku batemu.

Mu kavuvuhhano kano, waliwo aba bodaboda abalala abaagezezzaako okugoba pikipiki eno kyokka abatemu ne bongera okukuba amasasi mu bbanga ne beeyongerayo.

Oluvannyuma lw’akaseera, omusajja ono ne banne abaabadde ku kifo we bookera wolodingi bazze mpolampola okulingiza mu mmotoka eyabadde ekubiddwaamu amasasi era okwetegereza nga Afande Kirumira y’alimu n’omukazi gwe baalengedde alinnya.

Okusinziira ku nnyinyonnyola y’omusajja ono eyalabye abatemu ne banne, kiraga nti Kirumira baamulondodde olwo ne bamanya emikolo kw’ali n’engeri gye yayambadde nabo ne bagezaako okwambala okumwefaanaanyiriza.

Kirumira yabadde ava mu kwanjula era yabadde mu kkanzu. Kyandiba nga nabo baasazeewo omu kwambala ekkanzu ne yeefuula akanika mmotoka kirowoozese abandibalengedde nga bamanyi Kirumira nti yennyini y’avuddemu akanika mmotoka ye kiggyewo okwekengera.

Ekirala, kyongera okulaga nti osanga n’emikolo gye yabaddeko, nabo baabaddeyo ne bategeera bulungi bw’agenda okutambula ne kye bayinza okukola.

SSENTEBE AYOGEDDE KU BAVUBUKA ABAASISINKANYE MUSEVENI

Fred Luyimbazi Byansi ssentebe wa Bulenga A, obutemu mwe bwakoleddwa yategeezezza nti, abavubuka ababiri abaatwalibwa Pulezidenti Museveni ku Lwomukaaga ekiro nga Kirumira baakamutemula, baamunnyonnyola bye baalaba ku batemu bano bwe baakomyewo n’abasisinkana ne bamuyitiramu.

Yagambye nti olw’ensonga z’ebyokwerinda tasobola kwasanguza mannya gaabwe naye bwe baabatuusa mu maka g’obwapulezidenti e Ntebe, baabakozesa sitetimenti ku buli kye yalaba oluvannyuma ne babakomyawo.

Maneja w’ekifo ekiyitibwa Dannys, Kirumira w’abadde asuza mmotoka ye nga kino kyesuddeko mmita nga 40 okuva we baamuttira yagambye nti Kirumira abadde kasitoma we wa lulango naye ku luno yabadde tannatuukawo kusuzaawo mmotoka ye.

Mu ngeri y’emu abooluganda lwa Kirumira baakedde ku ddwaaliro e Mulago okukimayo engoye z’omugenzi okwali ekkanzu n’ekkooti tebaazifunye oluvannyuma lw’okusanga nga waggale.

ASP Kirumira yatemuddwa ku Lwomukaaga ku ssaawa nga ssatu ez’ekiro nga yakubiddwa amasasi 12.

Omuwala gwe yabadde naye Resty Naalinnya Mbabazi naye baamuttiddewo nga ye baamukubye amasasi 50. Kirumira yaziikiddwa Mpambire mu Mpigi ku Ssande ate Resty Ainembabazi Naalinnya n’aziikibwa e Mpenja ku Mmande.