Kkooti egobye okusaba kwa Bakaleke okweyimirirwa

By Musasi wa Bukedde

KKOOTI egobye okusaba kwa ofiisa wa poliisi Siraje Bakaleke kwe yabadde ataddeyo ng’ayagala emisango egyamuggulwako mu kkooti ewozesa emisango gy’obukenuzi giyimirizibwe.

Bakaleke1000600 350x210

Omulamuzi, Musa Ssekaana owa kkooti enkulu ku Twed Tower yatuuzizza kkooti balooya b’eyali adduumira poliisi ya Kampala South ACP/Siraje Bakaleke okwabadde Robert Senfuka ne bamusaba mu butongole abawe ekiragiro eky’ekiseera ekiyimiriza emisango gye baggula ku muntu waabwe omulamuzi kye yagaanye ng'agamba nti ensonga ze baamuwadde z'abadde nnafu.

Kino kitegeeza nti nga October 5, Bakaleke alina okweyanjula ku kkooti y’abalyake e Kololo ne banne.

Ne ku mulundi guno Bakaleke teyalabiseeko mu kkooti. Looya we Ssenfuka yagambye nti olw’embeera eriwo naddala okuttibwa kwa Kirumira, yeekengera olw’obulamu bwe.

Bakaleke emisango agiriko n’abaserikale abalala okuli D/ASP Robert Munerezo, D/ASP Innocent Nuwagaba, D/AIP Robert Asiimwe, PC Junior Amannya,PC Gastavas Babu, Kenneth Zirintusa, looya Paul Wanyoto ne Samuel Nabeta Mulowooza yinginiya mu kkampuni ya Eyepower Engineering Co. Ltd bwe beekobaana.

Kigambibwa nti mu February, 2018 Bakaleke ne banne baasinziira mu kitongole kya poliisi ne bakozesa obubi ofiisi zaabwe ne balagira okukwata.

Abakolera Park Seughhoon, Jang Seungkwon ne Ha Dongsub ne babaggalira mu ngeri y’obumenyi bw'amateeka.

Kigambibwa nti Bakaleke yeekobaana ne Mugoya ne bafera ddoola 415,000 okuva mu kkampuni ya mckninley resource company LTD.

Omulamuzi Ssekaana yawadde Bakaleke omukisa omulala nga October 11, 2018 okuwa omuwaabi wa gavumenti ne Ssabawolereza wa gavumenti ebiwandiiko by’okusaba kwe basobole okwewozaako.

Bakaleke addukidde ku poliisi ya CPS n’aggulawo omusango gw'abantu batamanyi b’agamba nti bamukubira essimu nga batiisatiisa okumutta oba abawe ssente bamusonyiwe