Omuliro gusaanyizzaawo leediyo e Jinja

By Musasi wa Bukedde

OMULIRO gukutte situdiyo za leediyo ya Kiira FM esangibwa ku luguudo lwa Nalufenya/Clive mu kibuga Jinja ne gusaanyaawo ebyuma byonna.

Kiira 350x210

BYA JACKIE NAMBOGGA

Situdiyo zino zibadde ku mwaliiro ogusemba waggulu nga wansi waliyo ekirabo ky’emmere ekya Parkvilla, amaduuka g’amasimu, ekifo kya beetingi n’awakolerwa dduyiro.

Abakozi Living Kitimbo, Julius Ssempala (Makengere) ne Tom Lumaama abaabadde mu situdiyo baategeezezza nga bwe gwatandise ku ssaawa 2:30.

Kitimbo yagambye nti, baasoose kulaba omukka nga guva mu situdiyo mwe bakwatira amaloboozi ne baguzikiriza ne baddayo okukola. Wabula waayise akaseera katono, omuliro ogw’amaanyi ne gutandika ne bagezaako okuguzikiza ne balemererwa.

Badduse ne bategeeza Poliisi ezikiriza omuliro wabula n’erwawo ekyaggye abantu mu mbeera ne babambalira we baatuukidde ng’omuliro gumaze okusaanyaawo ofiisi.

Maneja wa leediyo eno, Ismail Kiiza yategeezezza nga bwe babadde baakateeka ebyuma ebipya mu situdiyo nga bimazeewo obukadde 100.

Ebirala ebyasaanyeewo mwabaddemu laptop z’abakozi n’ebyuma bya kkampuni eya Rock Telecom Company ebadde epangisa omulongooti ku leediyo eno.

Amyuka omuduumizi wa poliisi mu kitundu kya Kiira, Onesmus Mwesigwa yanenyezza abaddukanya leediyo okugayaalirira embeera nga balowooza nti basobola okulwanyisa omuliro guno.

Omuduumizi wa poliisi e Jinja, Vincent Irama yategeezezza ng’omuliro bwe gwavudde mu leediyo mwennyini.