Gavumenti etadde amaanyi mu masannyalaze g’enjuba

By Dickson Kulumba

OMUMYUKA wa Pulezidenti wa Uganda, Edward Kiwanuka Ssekandi, agambye nti Gavumenti egenda kukulaakulanya buli kintu ekiyinza okuvaamu amasannyalaze aganaayamba okutumbula enkulaakulana mu ggwanga.

Mpaayo 350x210

Ekimu ku bino ge masannyalaze g’enjuba Uganda g’erina mu bungi kyokka nga gabadde tegakozesebwa wadde ng’eggwanga lirina obwetaavu bw’amasannyalaze.

Ssekandi yagambye nti Gavumenti emalirizza okukola entegeka z’okukwanaganya bamusigansimbi okuteekawo ekifo ekinaakola amasannyalaze gano e Kabulassoke mu ssaza ly’e Gomba.

“Tulina ddaamu naye n’enjuba gye tulina wano esobola okutuwa amasannyalaze ne tugakozesa nga tetutaddeewo waya oba emisoso emirala ng’egibeera ku masannyalaze ga ddaamu,” Ssekandi bwe yategeezezza.

Yabadde asisinkanye ekibinja kya bamusigansimbi abagenda okuteeka ensimbi mu pulojekiti y’e Kabulassoke ey’amasannyalaze g’enjuba, mu ofi isi ye Nakasero E Kabulassoke, Kabaka gye yawadde bamusigansimbi ettaka okuteekako pulojekiti esuubirwa okusinga obunene wansi w’eddungu Sahara, ng’ekifo kino kisuubirwa okufulumya amasannyalaze agawera ‘megawati’ 20.

Dr. David Alobo nga y’akulira emirimu mu Xsabo Group, yategeezezza nti kkampuni nnyingi ezeegasse okussa ensimbi mu pulojekiti, era bwe banaamaliriza Kabulassoke, baakugenda mu bitundu ebirala.

Pulezidenti Museveni y’asuubirwa okutongoza enteekateeka eno ku nkomerero y’omwezi gwa November.

Ng’oggyeeko amazannyalaze, bano bagenda kuwagira ebintu eby’enjawulo ng’emizannyo, abakyala, okutumbula obulimi bw’emmwaanyi mu bitundu ebitali bimu mu ggwanga, n’ebirala.