Museveni awadde abawala entandikwa gye yabasuubiza

By Musasi wa Bukedde

PULEZIDENTI Museveni atuukirizza ekisuubizo kye yawa abawala 4,000 be yatikkidde ku nkomerero ya August e Kololo n’abasuubiza okubawa ssente obuwumbi 4 n’ebikozesebwa mu bye baasomye.

Ghetto 350x210

Ku Lwomukaaga abawala abasoba mu 900 abaakuguse mu kutunga n’okusiba enviiri baakwasiddwa ebyalaani n’ebyuma ebikozesebwa.

Abawala ababadde tebaafuna ssente ezaabasuubizibwa Pulezidenti, baasoose kubagabira 1,000,000/- buli muntu.

Farida Mayanja maneja wa pulojekiti eno eyatuumibwa Presidential Initiative on Skilling the Girl Child ye yabakwasizza ssente zino bakira zasookola mu kuttiya.

Bwe yali abatikkira, Pulezidenti yabasuubiza nti, agenda kubawa entandikwa baleme kunoonya mirimu basobole okukozesa bannaabwe.

Yabasuubiza okubawa ssente obuwumbi buna ne SACCO yaabwe, agiteekemu obukadde 200. Mayanja yagambye nti, Pulezidenti yatuukirizza ekisuubizo kye, kye yakola era ayagala baleme kubonaabona.

Yagasseeko nti, balina ebifo mukaaga mwe babadde basomeseza abawala bano n’ategeeza nti, baatikkira abawala 4,497 okuva mu bifo mukaaga we babasomesereza eby’emikono okuli okutunga, okusiba enviiri, okukola engatto, okufumba n’ebirala.