Kanyama wa Bobi WIne agaaniddwa okuyimbulwa

By Musasi wa Bukedde

Edward Ssebuufu yasimbiddwa mu kkooti wamu ne ddereeva w’ekimotoka ki guleeda ekyalabwako mu bitundu ebyo nga kisibiddwa obuwero obumyufu ng’ono ye Musa Ssennyange.

Mutwee2 350x210

Kkooti egaanyi okuyimbula Kanyama wa Bobi Wine n’emugatta mu babaka ba palamenti n’avunaanibwa gwa kulya mu nsi lukwe.

Edward Ssebuufu amanyiddwa nga Eddy Mutwe nga kanyama w’omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu asimbiddwa mu kkooti y’eddaala erisooka e Ggulu n’aggulwako omusango gw’okulya mu nsi olukwe.

Ono yasimbiddwa mu kkooti wamu ne ddereeva w’ekimotoka ki guleeda ekyalabwako mu bitundu ebyo nga kisibiddwa obuwero obumyufu ng’ono ye Musa Ssennyange.

Omulamuzi Musa Ssekaana owa kkooti enkulu ewulira emisango gy’engassi ku Mmande yalagira Ssebuufu ayimbulwe awatali kakwakkulizo konna wabula omuwaabi wa gavumenti, Julius Ochen ategeezezza omulamuzi Yunus Ndiwalana nti ekiragiro ekyayisibwa kyali kiragira ayimbulwe okuva mu kaduukulu gye yali aggaliddwa mu bukyamu.

Bano bawezezza omuwendo gw’abantu 34 abavunaanibwa okulya mu nsi olukwe bwe baakuba mmotoka ya pulezidenti ejjinja ne lyasa endabirwamu.

Puliida wa Ssebuufu,  Tonny Kitara ategeezezza omulamuzi nti ab’ebyokwerinda be baalemesa ekiragiro kya kkooti eky’okuyimbula Eddy Mutwe nga kino kirinnyirira eddembe lw’omuwawaabirwa.

Bano bagattiddwa ku babaka okuli owa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu, Kasiano Wadri owa munisipaali ya Arua, Gerald Karuhanga owa Ntungamo, Paul Mwiru owa Jinja East n’eyali omubaka wa Makindye East, Micheal Mabikke nga bano baayimbulwa n’abalala wadde abamu bakyali mu kkomera.