'Abalimi musige ebirime, enkuba etandise'

By Muwanga Kakooza

ABAKUGU bategeezezza nti enkuba namutikwa eyakazibwako erya ‘elninono’ egenda kutandika okufumuka mu bitundu bya Uganda ebisinga obungi wakati wa Sepetember ne December 2018 ne bakunga abantu okugyetegekera.

405e59180030ae66e24f222c655b3e31xl 350x210

Ab’ekitongole ky’embeera z’obudee ekya ‘’Uganda National Metroligical Authority’’ bagamba nti nnamutikwa w’enkuba eno agenda kuba mu bitundu by’eggwanga byonna okuggyako e Mbarara n’emirirwano wamu n’ekitundu ky’e Karamoja. Era enkuba egenda kutandika mu makkati ga September , etuuke ku ntikko mu October.

Ebitundu bya Uganda ebimu bitandise okuloza ku nkuba ng’erimu ne laddu.

Enkuba ey’ekikula kino etera okubaamu laddu, embuyaga era ereeta n’amataba.

Minisita w’eggwanga ow’obutonde bw’ensi, Dr. Mary Gorette Kitutu ategeezezza bannamawulire ku Media Centre mu Kampala nti abalimi basaanidde okutandika okusima ebirime kati okugeza kasooli, muwogo n’obulo ebirwawo okukukola. 

Kyokka n’alabula abantu okutereka amazzi  g’okukozesa okufukirira ebirime sizoni eddako kuba enkuba ey’ekikula kino etera okugobererwa ekyeya.

Era n’abula ababeera mu nsozi okwegendereza okukulugguka kw’ettaka n’abali mu bikko okwetegeka okwanjaala kw’amazzi n’amataba.

Alabudde nti  omusujja gw’ensiri n’endwadde z’ebisolo biyinza okweyongera singa abantu tebeetegeka bulungi ku nkuba eno. Era n’asaba ab’amalwaliro n’ebyobulamu okwetegekera embeera eyinza okubalukawo.                         

Yagambye nti Bannayuganda balina okwetegekera enkuba eno nga beewala ebintu ebiyinza okuvaako okufiirwa obulamu bwabwe n’ebintu byabwe.

Amassekkati ga Uganda (Buganda) enkuba etandise okutonnyamu empolampola ng’olumu erimu n’okubwatuka kw’eggulu.

Yalabudde amasomero okuba n’ebizimbe ebigumu bireme kugwiira bayizi mu kiseera kino.             

Ng’oggyeeko omusujja gw’ensiri endwadde nnyingi ezitera okubalukawo mu ggwanga olw’enkuba efukumuka.

Ezimu ku zo kuliko kkolera atera okutigomya Bannakampala n’ebitundu ebirala olw’obujama.

Ng’ate mu bitundu ebimu ng’ebyensozi e Bugisu watera okubaayo okukulugguka kw’ettaka okuva ku nsozi olumu ekivaako abantu okufiirwa obulamu bwabwe.

Mu biseera ebimu enkuba ebaamu okubwatuka kw’eggulu n’okugwa kwa laddu.