Aboobuduuka obutunda eddala bagobeddwa mu kibuga: 'Mudde mu byalo'

By Muwanga Kakooza

BANNANNYINI maduuka amatono agatunda eddagala (drug shops) beekubidde enduulu mu palamenti nga baagala eyimirize ekiragiro ky’ekitongole ekivunaanyizibwa mu ggwanga ekya ‘National Drug Authority’ ekibagoba mu bibuga bagende mu byalo.

Medicines 350x210

Beemulugunya ne ku kiragiro ekibagaana okukolera bizinensi zaabwe mu bitundu ebiraraanye amadduuka amanene agatunda eddagala ezzungu (pharmacies).

Okwemulugunya baakututte wa sipiika Rebecca Kadaga. Kino kiddiridde omuwandiisi wa NDA Donna Kusemererwa okuwandiika ebbaluwa  ng’alagira ab’obuduuka obutono obutunda eddagala obutakolera bizinensi zaabwe mu bbanga litasussa kiromita emu n’ekitundu okuva ku maduuka g’eddagala amanene.

Era n’agamba nti okutandika ne January 2019 ab’obuduuka obutono tebagenda kukkirizibwa kukolera mu bibuga balina kudda mu byalo.

Ssentebe w’ekibiina ekigatta ab’obuduuka obutono obutunda eddagala  ekya ’National Drug Shops Advocacy Initiative’ Dennis Ssenyonjo yagambye nti okugobaganyizibwa kuno kukontana ne konsityusoni  era kukosa ab’obuduuka obutono abawera 9,000 abali ku mirimu.

Konsityusoni egamba nti buli muntu alina eddembe okuba n’ebyobugagwa bwe wamu n’okukola omulimu gwe yasomerera. Era ng’ekiragiro kikontana n’ebiruubirirwa bya NDA ebigamba nti abantu balina okufuna eddagala ku bbeeyi ensaamusaamu.

Uganda erimu amaduuka g’eddagala amanene 1700 ng’ate disitulikiti 60 mu Uganda teziriimu maduuka gano. Era okuwera ab’obuduuka obutono kugenda kuleka obulamu bw’abantu mu matigga bangi era kyakukosa ebyenfuna by’eggwanga.

Obuduuka obutono 11,000 obuli mu ggwanga buleetera Uganda ensimbi obuwumbi 90.
Era baagala minisitule y’ebyobulamu ne NDA okusazaamu ekiragiro kino.

Sipiika yasuubizza okukikolako nga Palamenti tennagenda mu luwummula mu October 2018.