Baloopye abasomesa aboosa

By Musasi wa Bukedde

Abakulu b’amasomero beemulugunyizza ku basomesa abagayaavu ne bagamba nti be bavuddeko ebyenjigiriza okusereba mu disitulikiti.

Busoga 350x210

Bya TOM GWEBAYANGA

Abakulu b’amasomero mu disitulikiti y’e Kamuli basisinkanye omubaka w’ekitundu kyabwe balabe engeri gye bayinza okutumbula ebyenjigiriza.

Abakulu b’amasomero beemulugunyizza ku basomesa abagayaavu ne bagamba nti be bavuddeko ebyenjigiriza okusereba mu disitulikiti. 

Ssentebe w’ekibiina ekibaggatta, Hussein Mitala yagambye nti waliwo abasomesa abalina omuze gw’okwosa, abatafaayo kutunula mu bitabo by’abayizi era tebagoberera nkola ya basomesa nga okweteekateeka obulungi nga tonnagenda mu kibiina.

Omubaka wa Munisipaali y’e Kamuli, Hajati Rehema Watongola mu lukiiko olwatudde ku  Kamuli Township Pulayimale ku Lwokutaano yalabudde abasomesa abo era n’asaba babaloope ku minisitule bwe baba bagaanye okukyusaamu.

Omukulu w’essomero lya Township, John Luweire yeebazizza Sipiika Rebecca Kadaga eyabayambye okununula ennyumba z’abasomesa ezibadde zaawambibwa abakungu mu byenjigiriza. Kati waliwo abasomesa abaafunye we basula.

Ku ky’okuwa abaana ekyemisana, omubaka yagambye nti buvunaanyizibwa bwa bazadde okukolagana n’abamasomero okulaba ng’abayizi tebasiiba njala.