Lwaki mutusosola - Abayimbi abato

By Martin Ndijjo

Abayimbi abato beemulugunyizza ku bayimbi abakulu okubasosola

Bayimbi 350x210

ABAYIMBI abato balangidde abakulu obutabayamba ne badda mu kubasaba ssente n’omukwano.

Bano beemulugunyizza ku baabasooka mu kisaawe ky’okuyimba n’abategisi b’ebivvulu obutaagala kubayamba nabo basobole okuvaayo.

Abayimbi bano abeegattira mu kibiina kya 'Uganda Music Risingstars Association' bagamba nti omutindo gwa myuziki mu ggwanga gugudde lwakuba waliwo abayimbi abeekomezza ensike y’okuyimba nga balowooza myuziki alina kukoma ku bbo ate abandibayambyeko nabo basobole okutumbuka baba baagala kubeesasuza mu bya kubaganza.

Bano nga bakulembeddwamu pulezidenti w’ekibiina kyabwe, omuyimbi Noty Nash batuuzizza olukiiko lwa bannamawulire ku National theater enkya ya leero ne battottola ebizibu n’okunyigirizibwa kwe bayitamu ekibawalirizza okutandikawo ekibiina ekyabwe okulwanirira eddembe lyabwe.

“Ffe tuyiiya ennyimba abanene ze bayimba ne zifuuka hiiti naye gye bigwera nga tebatusasudde, ku bivvulu abato ffe abasookawo okukwatirira ekintu ne tucamula n’okubeesabeesa abantu nga abanene oba nanyini kivvulu bwajja naye tetusiimibwa.

Bwetudda ku bibiina by’abayimbi abato ffe ababikwatiridde naye eno tubeera mu kunyigirizibwa omuyimbi omu nannyini kibiina yekka y’alina okubeera waggulu, Tukola ennyimba n’abayimbi abanene (kollabo) olukwatayo omuyimbi omunene ng’alufuula lulwe gwe omuto taddamu kukwogerako n’abamu bamanyi bamanyi okuddayo mu situddyo ne bajjamu amaloboozi gaffe ate abalala balina n’omuze gw’okubba ennyimba zaffe mu situddyo.

Bwetufuna ebizibu abayimbi abato tetuyambibwa kale kye kiseera naffe okwekolamu omulimu.

Wadde nga waliwo ebibiina eby’enjawulo omwegattira abayimbi, bano bagamba ne bwe babatuukiridde ku nsonga ezitali zimu tebayambiddwa, ababitandikawo n’abayimbi abanene be babifunamu.

Noty Nash era ategeezezza nga bwe bamaze okwewandiisa mu mateeka ekibiina kyabwe era bagenda mu maaso n’okuwandiisa ba memba mu ggwanga nga mu kiseera kino baweeze 700 

Ayongeddeko nti ng’ogyeko okulwanirira eddembe ly’abayimbi abato balina n’enteekateeka okubayamba okulaba nti myuziki wabwe azannyibwa ku mikutu gy’empuliziganya ez’enjawulo, okwongera okubabangula mu myuziki n'ebirala.