Omugagga wa Njanko Property poliisi emuyigga lwa kufera ssente

By Musasi wa Bukedde

Eby’omugagga Moses Nkoyoyo amanyiddwa nga Micky owa kkampuni etunda ettaka eya Njanko bibi! poliisi emuyigga ku misango gy’okuggya ssente ku muntu ng’akozesa olukujjukujju.

Nja 350x210

Eby’omugagga Moses Nkoyoyo bibi! Poliisi emuyigga lwa kufera ssente.

Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa poliisi nga kissiddwaako omukono gwa Emilian Kayima n’ogw'omwogezi wa poliisi mu ggwanga ku lwa ssabaddumizi wa poliisi, kiraga nti Nkoyoyo amanyiddwa  nga Micky,  dayirekita mu kkampuni etunda ettaka eya Njanko yeetaagibwa poliisi ku misango gy’okuggya ssente ku muntu ng’akozesa olukujjukujju.

Ono yagguddwako omusango oguli ku fayiro nnamba CRB 708/2018 ku poliisi e Mityana.

Nkoyoyo awenjebwa obuseenene, bamutaddeko n’ekirabo kya bukadde 10 eri oyo yenna abeera amulabyeko.

Kyokka okusinziira ku kiwandiiko ekyasoose okufulumizibwa akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi e Mityana, kiraga nti Nkoyoyo yandiba nga yaddukidde mu ggwanga lya South Africa okusinzira okusinzira ku kunoonyereza okwakakolebwa.

Nkoyoyo kigambibwa aliko omusuubuzi gwe yaggyako ssente eziri mu bukadde 120 ng’akozesa olukujjukujju.