Famire ya bantu 5 efiiridde mu kabenje ddekabusa e Wobulenzi: Kuliko n'obuyimbi wa Golden Band

By Stuart Yiga

ABATUUZE b’e Wobulenzi mu disitulikiti y’e Luweero na buli kati bakyali mu kinyobero oluvannyuma lw’akabenje ddekabusa akaaguddewo ku Ssande ne kafiiramu abantu bafamire emu bataano, n’omulala omu.

Bya STUART YIGA

Ayogerera Poliisi mu ttundutundu lya Savanah, ASP Paul Kangave, agamba nti akabenje kano kaabaddemu mmotoka bbiri okwabadde loole ey’ekika kya FUSO nnamba UAR 162G ne Vitz nnamba UAS 163T.

Kangave era ategeezezza nti, abaafudde kuliko Isaac Mbogo, 32, Florence Nankumbi,28, Richard Lule,30,  ne Patience Najjuma,28.

Kigambibwa nti akabenje kano kaavudde ku ddereeva wa Vitz eyabadde aweenyuka obuweewo okuva e Luweero ng’ayolekera Kampala.

“Yagezezaako okuyisa lukululana mukatawuni e Wobulenzi  kyokka ng’ate waliwo n’emmotoka endala eyabadde eyisa kati mukugezaako okusiba, mmotoka yayingiridde loole oluvannyuma neyefuula emirundi egiwera abantu bana nebafiirawo ate abalala babiri nebafiira mu ddwaliro lya Luweero Health Centre IV gyebaabadde batwaliddwa okufuna obujjanjabi!” omu kubeerabiddeko akabenje kano nga kagwaawo bweyategeezezza Bukedde.

Poliisi okuva e Wobulenzi emirambo gy’abagenzi yagigyeewo n’egitwala mu ddwaliro e Luweero, oluvannyuma negikwasibwa ab’engganda zaabwe okugiziika.

Kigambibwa nti abamu kubagenzi babadde bayimbi era nga balina oluganda ku muyimbi Meserch Semakula wamu ne Haruna Mubiru.