Enjaga ya bukadde 6 ebakwasizza

By Stuart Yiga

ABASAJJA babiri abagambibwa okukukusa enjaga ebalirirwamu obukadde 6 poliisi ebakutte.

Njaga2 350x210

Bya STUART YIGA
ABASAJJA babiri abagambibwa okukukusa enjaga ebalirirwamu obukadde 6 poliisi ebakutte.
 
Frank Igwe, ow’e Bunga, mu divisoni y’e Makindye ye yakwatiddwa ne Muhammad Byaruhanga, ow’e Lubaga.
 
Bambega ku kitebe kya Poliisi e Kibuli baategeezezza nti, Byaruhanga yasindise Igwe mu ggwanga ly’e Mozambique okumuleetera ‘ebyaaaguzi bye’ oluvannyuma ebyategeerekese nti yabadde njaga kyokka n’atabituusa nga yeekwasa nti abaserikale baabimuwambiddeko mu kkubo.
 
Byaruhanga eyabadde atambulira mu mmotoka ya buyonjo nnamba B509 BGE, yategeezezza Poliisi nti, bwe yabadde ayorekera eggwanga lya Kenya, abaserikale b’e Tanzania baamuyimirizza ne bamuggyako ‘ebyamaguzi’ bye yabadde nabyo nga beekwasa nti byabadde bimenya mateeka.
 
Ye Frank agamba nti, waliwo eyamuwadde amawulire nti Igwe byonna by’ayogera alimba kuba waliwo eyamulabye ng’ebintu abitundira e Zambia.
 
Poliisi yayingidde mu nsonga z’abasuubuzi bano era n’ebaggulako omusango ku fayiro nnamba GEF 992/2018, oluvannyuma lw’okutemezebwaako nti waliwo enjaga eweza kkiro 14, gye baabadde bakukusa.
 
Ekyewuunyisa, Poliisi ng’emaze okubakwata baatandise okulwanagana mu maaso gaayo era okukkakkana nga babagguddeko n’omusango omulala ogw’okulwanira ku Poliisi.
Akulira okunoonyereza ku biragalalagala ku kitebe ky’abambega ba Poliisi e Kibuli, Tinka Zarugaba,