Kayihura azzeemu okweyanjula mu kkooti

Kayihura azzeemu okweyanjula mu kkooti

EYALI omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Gen. Edward Kale Kayihura agondedde ebiragiro kkooti ya magye bye yamussaako bwe yali emuyimbula ku kakalu ka kkooti.

Kayihura ku mmande yazze ku kkooti y’amaggye e Makindye ne yeeyanjula eri omuwandiisi wa kkooti ng’obukwakkulizo obwamussibwako okweyanjulanga oluvannyuma lwa wiiki bbiri buli mwezi.

Kayihura yajjidde mu mmotoka ezaamuweebwa ministule y’ebyokwerinda nnamba UG 2016D ng’awerekerwa kabangali eyabadde emuvaako emabega n’ayingira kkooti ng’akozesa omulyango gw’abakungu era olwamaze okweyanjula n’okuwandiika mu bitabo bya kkooti nafuluma.

Yeeyanjudde mu ofiisi y’omuwandiisi wa kkooti, Maj. John Bizimana. Kayihura yayimbulwa nga August 28, oluvannyuma lw’ennaku 72 mu nkomyo. Kkooti ng’ekulirwa Lt. Gen. Andrew Gutti yayimbula Kayihura ku kakalu ka bukadde bubiri ezitali za buliwo n’okweyanjulanga mu kkooti emirundi ebiri mu wiiki nga buno bwe bumu ku bukwakkulizo bwe yabadde atuukiriza.

Kayihura avunaanibwa emisango esatu okuli okulemererwa okubalirira emmundu n’ebyokulwanyisa bwe yagabira abantu abenjawulo emmundu okuli ne ssentebe wa Bodaboda 2010 Abudallah Kitatta, ebitongole okuli Flying Squard , Specialized Operations Unit, Witness Protection Unit n’ekya Crime Intelligence mu poliisi.

Ono era avunaanibwa okuyambako mu kuwamba bannansi ba Rwanda abaali banoonya obubudamu mu Uganda nga babazza e Rwanda ewatali lukusa nga n’abamu ku bano battibwa ate abalala ne basibwa mayisa.