Bakutte omulala ku by’okutta ow’e Najjeera

By Musasi wa Bukedde

Bakutte omulala ku by’okutta ow’e Najjeera

Kis1 350x210

Omusajja omulala agambibwa okuba omu ku beebijambiya abatta omugagga Archie Rwego e Najjeera akwatiddwa n’agattibwa ku balala basatu era bakwasiddwa ekitongole ky’amagye ekikessi ne bakola sitatimenti ku byaliwo olunaku lw’obutemu obwo.

Abaakwatiddwa ye; Johnson Kisuule, Johnson Ongema, Abdul Luyombo ne Lawrence Okoth nga baatwaliddwa ku kitebe kya CMI e Mbuya ku Mmande gye bakuumirwa n’okutuusa kati nga okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Poliisi yasooka kukwata Kisuule n’ebiwundu ebyali birabika nga amannyo g’embwa mu ngalo n’enkwagulo ku nsingo mu mugongo, oluvannyuma CMI yakutte Luyombo gwe yaggye e Mayuge gye yabadde yaddukira.

Luyombo naye baamusanze n’ebisago mu ngalo. Rwego yatemuddwa mu kiro ekyakeesa Olwokuna mu nnamutikwa w’enkuba eyatonnya. Mukazi we Dora Asio baamuleka awunze olw’engeri bba gye baamutta ng’alaba.

Okuyingira baabaza ng’omukuumi agenzeeko mu kyalo ne bawalampa ekikomera ky’amaka agaliraanye Esella Hotel e Najjeera ne bagwa munda ne batta embwa ssatu ng’ebbiri kigambibwa nti zaafa butwa ate emu ne balwanagana nayo ne bagissa ebiso n’oluvannyuma ne bayingira mu nju ne batta Rwego. Mukusabira omugenzi mu Klezia ya St. Charles Kalooli Lwanga e Ntinda ku Lwokuna lwa wiiki ewedde, Namwandu Asio yategeeza abakungubazi nti Pulezidenti Museveni yamukubira essimu n’amutegeeza nga bwe yali afunye amawulire g’okutemulwa kwa bba era n’amusaasira nnyo.

Kigambibwa nti, Museveni ye yalagidde aba CMI okukola ekisoboka okukwata abatemu. Enfa ya Rwego yaleka ebibuuzo bingi era nga bwe biba byanukuddwa biyinza okuyamba abeebyokwerinda okutuuka ku baali mu lukwe n’okutta Rwego. Ebimu ku bibuuzo kuliko l Lwaki omukuumi olwavaawo okugenda ewaabwe abatemu lwe baalumba. Baamanya batya nti taliiwo?

Kisoboka okuba nga omukuumi olukwe yalumanyako? l Mu kuyingira, baali bamanyi we balina okuyita, wandibaawo omuntu eyali amanyi obulungi awaka eyabasomera we balina okuyita?

 Ddala oluggi oluyingira ennyumba lwamenyebwa abatemu oba baalina ekisumuluzo, ng’okwasa endabirwamu kwali kubuzaabuza.

Embwa entendeke ezitamala galya bye zisanze ani yaziwa ebintu ebyaziwunza ne wasigalawo emu gye baasinza amaanyi ne bagitema? l Kigambibwa nti Rwego yalina emmundu gye yeekuumisa kijja kitya nti yawulira ayingidde ennyumba n’atagiggyayo kugikozesa? l Bwe baba baali babbi lwaki baatwala TV na busawo bwa mukazi byokka ku bintu ebingi ebyali mu nnyumba?

Eriyo abantu abaali bawalaggana ne Rwego abayinza okuba nga be baali mu lukwe luno? l Kisoboka okuba ng’abaamutta baava ku mulimu era nga baali bamanyi ssente z’alinawo? Ebyo n’ebirala bingi biyinza okuyamba mu kuzuula abatta n’ensonga ezaamussa.