Ow'akasolya k'ekika kyenvubu bamukutte lwa kusobya ku 13

By Musasi wa Bukedde

Ow'akasolya k'ekika kyenvubu bamukutte lwa kusobya ku 13

Pop1 350x210

OMUKULU w’ekika ky’e Nvubu, Emmanuel Kayita Musoke Makabugo poliisi emukutte nga kigambibwa nti yasobezza ku mwana ow’emyaka 13 gw’abadde yaleeta awaka okumuyambako ku mirimu.

Kayita Makabugo ow’e Kabowa mu minisipaali y’e Lubaga, akuumirwa ku poliisi y’e Nateete ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso. Richard Mufuwa nga y’omu ku bazzukulu agamba nti olwategedde nga jjajja akwatiddwa n’alondoola ensonga alabe engeri gye zisobola okugonjolwa bamuyimbule.

Kyokka bakamutemye nti yasobezza ku muwala atanneetuuka gw’abadde abeera naye ewaka nga yamuweerera. Yagambye nti Kayita Makabugo yaleeta omwana ono mulekwa bwe beddira omuziro gwe gumu amuyambeko okumulabirira kubanga mukyala we ebiseera ebimu tabeerawo awaka.

Yayongeddeko nti omwana yakakasizza poliisi nti Kayita Makabugo aludde ng’amusobyako kyokka abadde yenyiyiddwa n’asalawo ensonga okuzitwala ku poliisi y’e Kabowa. Oluvannyuma omwana ono yafunye esimu ya poliisi eya 999 gye yakubyeko ne bagikwata era ne balagira poliisi y’e Nateete okuyingira mu nsonga zino .

Poliisi yagguddewo omusango ku fayiro nnamba SD: 38/23/10/2018 ogw’okukabasanya omwana atanneetuuka era ne batandikirawo omuyiggo gw’okukwata Makabugo. Wabula omwana poliisi yamututte n’e mukukulira mu kifo ekimu nga tebakkiriza muntu yenna atafunye lukusa kumutuukako.

Oluvannyuma Makabugo baamuzingizza nga atambula mu Kabowa ne bamukwata n’atwalibwa ku poliisi y’e Nateete gye yaakamala mu kaduukulu kaayo ennaku ssatu . Saulo Makubuya nga ye muwandiisi ku kakiiko ka LCI mu Kabowa Central yategeezezza nti ensonga z’okukwata Omutaka abadde tannazimanya kubanga tabadde mu ofiisi nga ssentebe James Ssenfuma naye yasangiddwa nga yagenze mu kyalo.

Luke Owoyesigyire, omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano yakakasizza okukwatibwa kw’Omutaka ono n’agamba nti akuumibwa ku poliisi y’e Nateete. Yagambye nti, ensonga z’omwana ono twaziyingiddemu era nga tunoonyereza ne ku baserikale baffe ku nsonga lwaki omwana ono yaloopa ku poliisi y’omu kitundu e Kawempe kyokka n’atayambibwa. Yayongeddeko nti enteekateeka zigenda mu maaso okulaba ng’Omutaka atwalibwa mu kkooti avunaanibwe.