ISO efunye obujulizi ku baayokezza abayizi

By Musasi wa Bukedde

ISO efunye obujulizi ku baayokezza abayizi

Kit3 350x210

OBUJULIZI ekitongole kya ISO bwe kifunye ku muliro ogwasse abayizi buwalirizza bambega okugenda ne baaza ennyumba egambibwa nti abatta abaana mwe baava. Okunoonyereza ku muliro ogwakumiddwa ku kisulo ky’essomero lya St. Bernards S.S Mannya e Rakai bakwongeddemu amaanyi era bambega b’ekitongole kya Internal Security Organisation (ISO) nga bakukulembeddemu nga bakolaganira wamu ne poliisi.

Ensonda mu ISO zaategeezezza nti bafunye obujulizi obuwera obusonga ku bagambibwa okuba nga be baasibidde abayizi mu kisulo ne bakikumako omuliro nga bakozesa amafuta ga peetulooli. Mu kwaza ennyumba eri mu kabuga k’e Mannya, bambega baabadde banoonya ekisumuluzo kya kkufulu abatemu gye baasiba ku kisulo nga tebannakikumako muliro. Ekkufulu eyo ye yalemesa abayizi okufuluma, okukkakkana ng’abayizi 10 bafudde ate abalala ne bafuna ebisago.

Okunoonyereza baakwesigamizza ku bujulizi abamu ku bayizi abaasimattuse bwe baabawadde naddala abaalaba n’abaawulira abatemu nga babalumbye ku ssaawa nga 5:00 ez’ekiro ekyakeesa Mmande.

Baagoberedde obuufu nga beesigama ku misinde bakaawonawo gye baawulira era ne balaba akatimba awagambibwa nti abatemu we baayita nga balumba essomero era ne mu kudduka nga bamaze okwokya abayizi, we baayita.

Wadde nga waliwo ebintu ebirala bisatu bye bakyetegereza, ensonda mu ISO zaategeezezza nti obujulizi bwe bakuhhaanyizza bukyetooloolera nnyo ku bayizi ababadde baagobwa mu ssomero. Ku bano kuliko omuyizi enzaalwa y’e Tanzania gwe balumiriza nti ye yakulemberamu banne okukola ekikolwa eky’ettima.

Essomero lino lirimu abayizi bangi abava e Tanzania nti era ono ayogerwako yali yagobwa mu ssomero obutaddamu kulinnyawo kigere kye; wabula nti abadde asoobasooba n’ayingira mu ssomero nti era ne ku Lwokutaano waliwo abaamulabako ng’ali ku ssomero.

Ensonda zaategeezezza nti wadde obujulizi obufunibwa businga kwetoloolera ku bayizi, naye bambega balowooza nti obuzito bw’ekikolwa bulaga obubonero obw’ekkobaane; nga ne bwe baba bayizi be baayokya ekisulo, wayinza okuba nga waliwo abantu abalala abaakolagana n’abayizi abo.

Okugeza, ekikolwa ky’okusookaokusiba ekkufulu ku kisulo, kya butemu nnyo nga kiyinza okuba kyaleetebwa muntu ow’ettima eyali ayagala okusaanyizaawo ddala essomero erisinga amaanyi mu kitundu.

Ensonda zaategeezezza nti ennyumba gye baayazizza y’ebadde epangisibwa abayizi bakyewaggula. Ennyumba eno nti yasooka kupangisibwa omuyizi enzaalwa y’e Tanzania kubanga gwe baasooka okugoba, wabula abayizi abalala bwe baagobwa, kwe kumwegattako nga we bava ne bagenda ku St. Bernads okukola ebigezo bya S.4.

Omuyizi enzaalwa y’e Tanzania abadde yafuna essomero mw’abadde asomera mu kitundu kye kimu era lino nalyo bambega balinoonyerezaako okuzuula oba lirina akakwate n’enkolagana n’omuyizi oyo mu by’okwokya abayizi, olw’entalo za bizinensi y’amasomero.

Bambega era banoonyereza ne ku basomesa abagambibwa nti babadde n’olutalo olw’amaanyi n’omukulu w’essomero, Henry Nsubuga nga luva ku kugaana basomesa kusomesaako mu masomero amalala. Banoonyereza ne ku lutalo olubadde mu ssomero nga lwekuusa ku buyambi obubadde buva mu Bazungu.

Abayizi ba S.4 abaagobwa babadde n’akakuubagano ak’amaanyi, nga kaatandikira ku muyizi wa S.1 eyayingira mu kisulo ky’aba S.4 ne bamukuba. Mu kumukuba, waliwo abayizi ba S.3 abaabalaba era bano be baawa obujulizi obwavaako okugoba aba S.4 mu ssomero.

Abaasembyeyo okugobwa baabakkirizza okukola ebibuuzo nga bava bweru era essomero lyagenze okwokebwa nga bonna bamazeeyo ebigezo byabwe okuggyako munnaabwe omu eyabadde abuzaayo ekigezo ekimu.