Bambega ba Bungereza balaze ebintu 7 kwebagenda okusinziira okuttukiza omusango gwa Kaweesi

By Musasi wa Bukedde

Bambega ba Bungereza balaze ebintu 7 kwebagenda okusinziira okuttukiza omusango gwa Kaweesi

Bam1 350x210

Bambega ba Scotland Yard, Gavumenti be yapangisizza okunoonya obujulizi ku batta Felix Kaweesi beezinze ku bintu musanvu ebigenda okutaggulula omusango guno.

Bye beezinzeeko byekuusa ku bituli abaakakiiko k’ebyokwerinda aka National Security Council (NSC) bye baalaba mu kunoonyereza okwakolebwa ISO ne CMI.

Era Gavumenti kwe yasinzidde okusalawo okutumya abakessi abakugu okuva e Bungereza aba Scotland Yard be baba banoonyereza. Bye batunuulidde ennyo kuliko: AMASIMU GA KAWEESI Kaweesi yalina essimu ez'enjawulo okuli ezikozesa setirayiti ezigenda okuddamu okwekenneenyezebwa.

Ezimu ku ssimu za Kaweesi zaalema bambega okuggulawo. Mbega wa ISO, Simon Peter Odong yategeeza akakiiko k’Ebyokwerinda nti, waaliwo essimu za setirayiti munaana ezaakozesebwa e Kulambiro ku lunaku lwe batta Kaweesi. Kaweesi yatemulwa March 17, 2017 e Kulambiro.

Yattibwa ne dereeva we Godfrey Mambewa n'omukuumi we Kenneth Erau. Ondong yannyonnyola nti, ekiseera essimu za setirayiti we zaali zikozesebwa e Kulambiro, abantu mu kitundu ekyo baasanga obuzibu okufuna ebyempuliziganya kubanga zibeera za maanyi, zitta ebyempuliziganya ebirala.

EKIFO WE BATTIRA KAWEESI Aba Scotland Yard bagenda kuddayo e Kulambiro okubuuza abantu oba ddala waaliwo okusalibwako ku byempuliziganya wakati w’essaawa 1:00 ne 3:30 ez’oku makya nga March 17, 2017. Balina n’okugenda mu makampuni g’essimu agalina emirongooti okumpi ne we battira Kaweesi okubuuza oba zaafunamu okutaataaganyizibwa.

Ssinga ebyo bizuulibwa nti byaliwo, obujulizi bwa setirayiti bujja kugattibwa ku bizibiti nga bwe banoonya bannannyini nnamba ezaali zikozesebwa n’essimu gye zaateekebwa kubanga ISO yazuulako essimu emu yokka.

EBIFO AWAATUULA ENKIIKO Abeebyokwerinda mu Uganda baagala Abangereza baddeyo ne ku bifo abajulizi ba ISO bye bagamba nti we baatuuza enkiiko.

Kiiza Rwogamutyarize omu ku bajulizi abakulu yategeeza nti, baasooka kusisinkana ku Nyondo Pub e Najjanankumbi nga balina misoni y’okutemula omunene omu mu ggwanga. Agamba nti bwe baali tebannakola misoni eyo, Nixon Agasirwe n’abanene abalala mu poliisi baabayita ne babategeeza nti omukulu alina misoni endala gye yali abawadde ya kutta Kaweesi. Baasisinkana ku Kati Kati Hotel e Lugogo okuteesa ku ngeri y’okumaliriza misoni. Ebifo byombi bambega Abangereza balina okubituukamu.

ABAJULIZI Essimu z’abasibe n’abajulizi zirina okuddamu okukeberebwa engeri gye baali bawuliziganyamu. Ensonda mu byokwerinda zaategeezezza nti, wateekeddwa okubeerewo ebintu bingi ebyakwekebwa bambega abaali banoonyereza ku musango guno ne batabizuula.

Abajulizi bonna baakuddamu okubuuzibwa. Waliwo abamu ku bajulizi abagambibwa nti obujulizi bwabwe bwali bwa bulimba okuli Frank Difas Nyindo makanika eyagamba nti yali akanika mmotoka ekika kya Harrier okumpi ne we battira Kaweesi. Yali ne munne ayitibwa Mukwasi ono oluvannyuma yattibwa abantu abataategeerekeka omulambo ne bagusuula e Masaka.

Ono naye bagenda kumuteeka ku kyuma ‘lie detector’ (Polygraph) ekikozesebwa okuzuula oba omujulizi by’ayogera bituufu oba alimba. Bagenda kuddamu okwekenneenya entambula ya Kaweesi mu nnaku ze ezaasembayo. Obujulizi bwa Christine Umuhoza Mbabazi eyali muninkini wa Kaweesi nabwo bwakuddamu okwekenneenyezebwa.

Mbabazi yagamba nti, Kaweesi yamweyabiza ku bantu abaali baagala okumutta era ekiro ekyakulembera olunaku lwe baamutta, baagenda bonna ku lusozi e Sseguku okusaba kyokka wakati mu ssaala Kaweesi yatulika n’akaaba nga yeebuuza lwaki baali baagala okumutta. Abajulizi bonna 16 balina okuddamu obujulizi bwabwe.

Kuliko; Kiiza Rwogamutyarize, Simon Peter Odongo (ISO), Christine Umuhooza Mbabazi, Frank Difas Nyindo, Anna Ninsiima, Wilber Kiggundu Lumu, Mary Mbabazi. Abalala ye Moses Kintu Kavuma, Hope Ainomugisha, Lazio Mugerwa, Difas Kadaala, Nnaalongo Nabawanuka, AIGP Fred Yiga, Col. Grant Mugabi wa SFC, ASP Aggrey Owora, Ahmed Kakonge ne Micheal Mugabi.

AKATAMBI Akatambi akoogerwako akaliko eddoboozi lya Gen. Kayihura ne Herbert Muhangi owa Flying Squad, bambega balina okulaga Abazungu we baakaggya basobole okukola okunoonyereza okwabwe nga beeyambisa obujulizi obutannawaanyisiganya mikono mingi.

Mu katambi bambega baagamba nti Kayihura yakubira Muhangi essimu n’amubuuza oba Kaweesi yali attiddwa naye n’amuddamu nti ‘ye, ye’ olwo Kayihura n’amugamba nti weebale nnyo.

Akatambi kano kaliko ebibuuzo bingi era kagambibwa nti bwe bujulizi obusinga obukulu mu musango. “Tetwagala bakolere ku byaffe. bwe bajja tujja kubalaga bye twakola ne we twasinziira nga tubikola batandike ebyabwe. Okunoonyereza ku Kaweesi kuwezezza omwaka mulamba n’ekitundu nga tewali kituufu kituukibwako.

Poliisi n’ebitongole byayo byasooka ne bikwata Abasiraamu n’abantu abalala okwali ne Meeya w’e Kamwenge Godfrey Byabakama nga kigambibwa nti be baali basse Kaweesi. Omulamuzi wa kkooti ento e Nakawa, Noah Ssajjabbi abamu yabayimbula ku kakalu ka kkooti oluvannyuma lw’okukizuula nti, baali tebalina nnyo kakwate ku musango. Abalala munaana yabasindika mu kkooti enkulu kyokka abamu baali baatulugunyizibwa nnyo ne baddukira mu kkooti nga bawawaabira Gavumenti.

Kkooti yalagira baweebwe obukadde 80 buli muntu kyokka Gavumenti n’ejulira era omusango gukyagenda mu maaso.

MMOTOKA YA KAWEESI Bambega ba Scotland Yard, baakuddamu okwekebejja emmotoka ya Kaweesi n’ebizibiti ebirala ebyakuhhaanyizibwa. Amasasi agaakubwa emmotoka n’ebisosonkole byago nabyo bagenda kuddamu okubyekebejja nga bakozesa tekinologiya waabwe.

Essimu ya dereeva Godfrey Mambewa n’ey’omukuumi Kenneth Erau nazo zaakwekebejjebwa okuzuula abantu be baali bawuliziganya nabo mu nnaku ezaasembayo okutuusa Kaweesi lwe yatemulwa.

Abakuumi b’awaka, omukyala ne Abbas Byakagaba aduumira ekitongole kya poliisi ekirwanyisa abatujju eyali ne Kaweesi ku ssimu bonna baakukola sitatimenti ku bye baawulira. Scotland Yard olwamaze okusunsula ttiimu ne bongera amaanyi mu tekinologiya alina okukozesebwa nga banoonya abatta Kaweesi