Poliisi etandise omuyiggo okukwata Bakaleke

By Musa Ssemwanga

Poliisi etandise omuyiggo okukwata Bakaleke

Yap1 350x210

ABEEBYOKWERINDA batandise omuyiggo ku ACP Siraje Bakaleke nga baagala atwalibwe mu kkooti avunaanibwe.

Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa poliisi nga November 19, 2018 nga kiteereddwaako omukono gwa Moses Muluya kyabadde kiragira okunoonya Bakaleke. Mu kiwandiiko kino poliisi yalaze nti Bakaleke yeebulankanya okuva ku mulimu mu October 2018 nga tafunye lukusa yadde okubaako omuntu gwategeezezza ng'amateeka agafuga abaserikale bwe galagira.

Mu kiwandiiko era yawadde Bakaleke amagezi ave gye yeekwese yeeyanjule ku mulimu nga November 25, 2018 nga bw'ataakikole ajja kulangirirwa mu butongole nga bwe yasuulawo omulimu nadduka.

Ku Lwokubiri mu musango Bakaleke mw'avunaanibwa n’abaserikale abalala ogw’okuwamba n’okubba Abakorea omuwaabi wa gavumenti, Harriet Angom yategeezezza kkooti ewozesa abakenuzi etuula e Kololo nga bwe bateebereza nti Bakaleke yadduka mu ggwanga.

Wabula ensonda zaategeezezza nti Bakaleke ateeberezebwa okuba nga yaddukidde South Afrika. Bakaleke ye muserikale owookubiri okwebulankanya ku bakama be natamanyibwako mayitire. Eyasooka ye Jonathan Baroza