Ekyasinga okutta abaali ku lyato ttamiiro - Kaawonawo

By Samuel Balagadde

WUUNO kaawonawo omulala attottola engeri abawala bana be yabadde nabo ku lyato bwe baafudde ng’alaba era naye yawonedde watono. Edward Kateregga, ali mu bulumi bwe yafunye ng’agezaako okutaasa abawala be yabadde nabo ku lyato.

Injury 350x210

Yamenyese omukono, yafunye ekiwundu ku mutwe ne ku liiso, alumizibwa mu kifuba, akaluubirirwa okufuka omusulo yenna ayogera omukka abaka mubake.

EBYALIWO ABINYUMYA BWATI;

Okugenda ku lyato nabadde ne bannange abawala basatu naffe abalenzi mwenda.

Tukolera mu kkampuni ya Elite Events eya Moses Muyenga era olw’okuba omukolo gwabadde munene, ne Muyenga twabadde naye ku lyato era yafudde.

Omulimu gwaffe batupangisa kugabula n’okusanyusa abantu ku mikolo.

Twatandikiddewo okugabula ng’eryato lyakasimbula e Gaba. We lyakkidde mu nnyanja nabadde n’abawala bana be tukola nabo, bonna baafudde.

‘’Neebaza Katonda okumponya akabenje kano”, bwe yagambye. Mutuuze w’e Namasuba mu Kikajjo mu Munisipaali y’e Makindye Ssaabagabo.

Agamba: Natikkirwa diguli mu mwaka guno kyokka nga mbadde nkola lejjalejja mu kkampuni ya Elite Events nga bwe nnoonya omulimu gwe nnasomerera.

Nga 24 November, abantu lwe baagwa mu mazzi, twasooka kugenda ku Port Bell e Luzira ne bannange abalala 11 nga mulimu n'abawala nga tulowooza nti eryato we lyalina okusimbula nga bakama baffe bwe baali batutegeezezza.

Twakonkomalira ku Port Bell okumala akaseera. Oluvannyuma twakubira mukama waffe essimu n'atutegeeza ng'ekifo bwe kyakyusiddwa era n'atuwereeza emmotoka okugenda ku KK Beach e Gaba.

Nga tutuuse e Ggaba nayo twakonkomalirayo ng'eryato likyakanikibwa era ne tulagirwa okutandika okugabula abadigize ng'eryato terinnasimbula.

Twasimbula ku ssaawa nga 11:30 akawungeezi wabula nga ku ntandikwa waaliwo okulabulwa ku mbeera embi eryato gye lyalimu nga terisobozesa kusaabaza bantu bangi.

Wabula olw'abantu omuli n'abeebitiibwa abaaliriko, abaserikale wadde baayogera kyokka baaleka eryato okugenda. Okuva lwe twasimbula ng’obubonero bulaga nti eryato liri mu mbeera mbi.

Kyokka DJ eyali atabula emiziki n'atugunya nti, kino kyali kivudde ku mayengo n'agamba nti ligenda kutereera buli muntu abeere mugumu.

Yali yaakamala okwogera, omuzindaalo ne guteguka ne gugwa mu nnyanja olwo akasiriikiriro ne kagoberera n'abamu bwe twali ne batandika okumanya nti, obuzibu tebuli ku mayengo wabula mbeera ya lyato .

Obunkenke ne butandika kubanga wano buli omu yali ategedde nti akabi kazze.

Mu kasiriikiriro ako nga buli muntu ali ku bunkenke, jenereeta nayo n’egwa mu mazzi.

Eryato ne litabuka ne litandika okuyuuga, ekyaddirira kwefuula ne litubbika mu mazzi.

Nze nalina “life jacket” eyannyamba okudda ku ngulu ne ntandika okuwuga era wano abadduukirize we bansanga.

Wabula eryato, erimu ku gaasooka okutuuka ne mukama wange Muyenga kwe yali lyabbira olw'obuzito bw'abantu abangi abaaliriko ate ng'abamu batamiivu.

Abantu ku lyato lino tebandifunye buzibu bw’amaanyi era twandisobodde okuvaako nga tuli balamu naye obuzibu we bwasinga okuva ly’ettamiiro kubanga abantu abasinga baali bavuya buvuya ng'abamu tebamanyi na kigenda mu maaso.

Nsaba abazira kisa okunnyamba nfune obujjanjabi. Alina obuyambi mufune ku ssimu 0704-380871.