Poliisi ettukizza omuyiggo gw'abaali ku lyato 4 abakyabuze

By Kizito Musoke

POLIISI ekyalemeddwa okuzuula abantu bana abagambibwa nti baali ku lyato eryagwa mu nnyanja Nalubaale omwafiiridde abantu 32.

Neba 350x210

Oluvannyuma lw’akabenje okugwawo ku Lwomukaaga nga November 24, poliisi yategeeza nti yali esobodde okuwandiika abantu 26 abaali basimattuse okufiira mu nnyanja n’okunnyulula emirambo 32 okuva mu mazzi.

Waliwo famire z’abantu bataano abaavaayo ne bategeeza nti abantu baabwe be bamu ku baali balinnye eryato eryabbira, naye ne bataddamu kubalabako.

Abaali banoonyezebwa kuliko; Peter Kakooza ow’e Masaka, Sylivia Namutebi ow’e Nakisunga Mukono, Godfrey Musisi e Kabalagala ,Andrew Senyonga ow’e Kireka ne Eron Ndagire.

Patrick Onyango, amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga yagambye nti ku bantu abataano abaabula, omuntu yekka, Eron Ndagire ye yalabika.

Abalala abasigadde abana tebannaba kulabikako era yasabye omuntu yenna ayinza okuba ng’amanyi amayitire gaabwe okutegeeza poliisi.

Eron Ndagire muyizi ku yunivasite e Makerere. Ono yategeeza nti mikwano gye bwe basoma be baali bamututte ku kabaga k’abagagga era nga baali baakusasulwa.

Oluvannyuma lw’akabenje okugwawo yasooka kuwummulamu Kawempe ate ng’obuzibu essimu ye yali egudde mu mazzi nga talina ngeri gy’ategeezaamu baaluganda be nti gy’ali mulamu.

Eryato wadde ligambibwa nti lyaliko abantu abawera 100 n'omusobyo naye bangi kiteeberezebwa nti baasimattuka, wabula ne batya okuvaayo okwogera nti be bamu ku bakaawonawo.