Ebipya bizuuse ku basse Dokita w'e Mayuge

By Musasi wa Bukedde

ENGERI gye basse Dokita abadde akulira eddwaaliro lya gavumenti e Mayuge efaanana engeri gye battamu Sheikh Abdu Qadir Muwaya mu disitulikiti yeemu ey’e Mayuge.

Suubula 350x210

Abatta Muwaya bajja babiri era baamulumba waka nga bwe kyabadde ne ku Dr. Abraham Gweruka 31 eyattiddwa mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga.

Mu kutta Muwaya, awaka waaliwo abantu abalala wabula baabataliza nga bwe kyakoleddwa ne ku Gweruka gwe baasanze ne mukazi we mu mmotoka kyokka omukazi ne bamutaliza.

Obutemu bwombi bukoleddwa mu mwezi gwa December mu nnaku za Ssekukkulu.

Dokita baamusse ebula ennaku 10 Ssekukkulu etuuke ate Muwaya baamutta ku Ssekukkulu ya 2014 kwennyini.

Abeebyokwerinda bakyanoonyereza okuzuula oba waliwo akakwate ku batemu abatta Muwaya n’abo abasse Dokita abadde akulira eddwaaliro lya gavumenti erya Kigandaalo – Mayuge.

Dr. Gweruka baamukubye amasasi asatu nga bagayisa mu ndabirwamu y’emmotoka ye ne bamuttira mu maka ge ku kyalo Burubandi B mu ggombolola y’e Nakigo mu disitulikiti y’e Iganga.

Gweruka yakubiddwa amasasi ku ssaawa 2:00 ez’ekiro nga bwe kyali ne ku Muwaya eyakubwa amasasi mu budde bwebumu.

Wadde abaamusse baabadde ku bigere nga bambadde bbuutusi, kigambibwa nti baabadde ne pikipiki gye baakwese mu maaso era bwe baamaze okukola obutemu ne bagenda awaabadde pikipiki ne baddukira okwo.

Dr. Gweruka yabadde yaakatuuka awaka ng’ava ku mulimu ne mukyala we Jalia Gweruka.

Mukyala we abazigu baamusambye tteke n’addukira mu kaabuyonjo ne yeekukuma.

Muwaya baamuttira mu maka ge ku kyalo Buyembe e Mayuge abazigu abaali batambulira ku pikipiki era olwamala okumukuba ebyasi ne babulawo.

Enzita y’emu, Sheikh Mustapha Bahiga gye yattibwamu nga December 29, 2014 ku muzikiti gwa Masjid Tawfi q e Bwebajja ku luguudo lw’e Ntebe.

Bahiga, naye yattibwa ku ssaawa 2:00 ez’ekiro abazigu abaali ku bodaboda.

Enzita eyagala okufaanaganamu; obudde n’amasasi agaakubwa yawadde abantu b’e Iganga ne Mayuge okulowooza nti, abatta Bamaseeka mu ggwanga, be basse Dr. Gweruka.

Kyokka abanoonyereza bakyasobeddwa kubanga Dokita tabadde Musiraamu ate nga talina kakwate ku Muwaya wadde ng’abadde akolera mu disitulikiti yeemu ey’e Mayuge.

BABIYINGIZZAMU AB’OKU MULIMU

Abalala awo we beesigama okulowooza nti, obutemu buno, bwandiba nga bwapangiddwa kuva ku mulimu Gweruka gy’abadde akolera.

Kigambibwa nti Dr. Gweruka abadde atunuuliddwa okulya ekifo ekinene mu disitulikiti nga kiteeberezebwa nti abaamwekengedde bayinza okuba nga be baapanze.

Kigambibwa nti waliwo akakuubagano mu bakozi mu bitongole ebimu e Mayuge wakati w’abazaalibwa mu kitundu naabo abaava ebweru wa disitulikiti.

Dr. Gweruka ava mu disitulikiti y’e Namutumba era bwe yafuna omulimu e Mayuge nti abamu baakiraba bubi.

Yasalawo amaka n’agazimba e Iganga era gye baamulumbye okumutta.

Aba famire baatabuddwa ku nsonga ezassizza omwana waabwe kubanga tabadde na mutawaana na muntu.

Omuduumizi wa poliisi ya East Busoga ow’ekiseera, Moses Okello yagambye nti, okunoonyereza kwebaliko tekugenda kukoma we battidde Dr. Gweruka balina n’okutuuka ku ddwaaliro gy’abadde akolera e Mayuge.

Kino, kyayongedde essuubi mu baabadde bateebereza ntwandibaawo olukwe olwalukiddwa okuva ku ddwaaliro.

Kyokka abalala, bakiteeka ku nnamwandu Jalia Gweruka gwe balowooza nti, okusinziira ku mulimu gwe nga munnamateeka, abazigu bandiba nga baabadde bagenderedde ye ne batta bba.

Kyokka ate abamu kino baakiwakanyizza nga bagamba nti singa baabadde bagenderedde mukazi, tebaandimulese kudduka nga bamusambyeemu tteke yokka.

ENGERI GWERUKA GYEYATTIDDWAMU

Yabadde mu mmotoka ekika kya Toyota Corona nnamba UAR 893N ne mukyala we.

Abazigu kigambibwa nti baabadde babiri nga pikipiki balina we baagirese.

Mmotoka baagivudde mu maaso ne bagisindirira amasasi asatu nga gayita mu ndabirwamu y’omu maaso nga bagoorekeza oludda lwa ddereeva.

Amasasi gonna, Gweruka gaamukutte mu kifuba.

Nulu Mutesi, jjajja w’omugenzi abadde akuuma awaka yategeezezza nti, abatemu yabalabye kyokka teyasobodde kubeetegereza mu maaso.

Yagambye nti, baabadde bambadde bikabuuti nga mu bigere bambadde gambuutusi.

“Ekigendererwa kyabwe baayagadde bulamu bwa muzzukulu wange yekka kubanga mukyala we tebaamukubye okuggyako okumusambamu ne bamuleka n’addukira mu kabuyonjo,” Mutesi bwe yagambye.

Ssentebe w’ekyalo, Swaibu Mpoya yategeezezza nti, okuttibwa kwa Dr. Gweruka baakutegedde ku ssaawa nga 2:30 ez’ekiro okuva ku mutuuze omu kyokka baagenze okutuuka mu kifo ne poliisi ng’abatemu badduse dda.

Yagambye nti, Dr. Gweruka ne famire ye, babadde baakamala emyaka 9 mu kitundu kyabwe.

Amyuka ssentebe wa disitulikiti y’e Mayuge, omugenzi gy’abadde akolera, Ruth Kibowa yagambye nti ettemu lisusse mu kitundu n’asaba ebitongole by’ebyokwerinda obutasumagira mu nsonga y’okutemulwa kwa Dr. Gweruka.

Dr. Gweruka alese abaana babiri ng’omukulu Chris Mukwana wa myaka etaano ate omuto wa mwaka gumu. Omugenzi waakuzikibwa ku kyalo Buwongo mu ggombolola y’e Nsinze mu disitulikiti y’e Namutumba.

Pulezidenti w’ekibiina ekigatta abasawo mu ggwanga, Dr. Ekwaro Obuku yagambye nti, Dr. Gweruka y’abadde omuwanika w’ekibiina kyabwe mu Busoga era abadde muzira eri abantu b’e Busoga kubanga ataasizza bangi okufa kuba alongoosezza abantu bangi.

Yagambye nti, okuttibwa kwa Dr. Gweruka ddibu ddene.