Bamukutte abba amataala ku mmotoka

By Edward Luyimbazi

Omusajja eyeefudde azze okulamuza mmotoka bamukubye mizibu, poliisi y'emutaasizza.

EYEEFUDDE azze okugula emmotoka bamukutte abba obutaala ne bamukuba mizibu.
Ali Chama 40 (mu katono), ow’e Kireka ye yasangiddwa ng’agezaako okubba obutaala bw’emmotoka mu kifo we booleza emmotoka e Bugoloobi.

Moses Lubwama omukozi mu kifo kino yagambye nti zaabadde ssaawa 7:00 ez’emisana, Chama n’ajja ne yeefuula alamuza emmotoka era n’agenda ng’azirambula  kyokka baagenze okutunula  mu kkamera eziri mu kifo ng’asokoola amataala mu mmotoka y’ekika  kya Mark X UBB 378Y.

Poliisi okuva e Bugoloobi  ye yazze okumutaasa ku baabaddewo abaabadde batandise okumukuba. Yagguddwaako omusango gw’obubbi ku fayiro nnamba SD 19/06/01/2019 ku poliisi e Bugoloobi.