Poliisi y'e Nansana etubidde n'abaana abaabula

By Musasi wa Bukedde

POLIISI y'e Nansana etubidde n’abaana bana abaabula mu biseera by’ennaku enkulu okuva mu maka ga bazadde baabwe.

Nansanakubula2 350x210

Bya PETER SSAAVA

Abaana kuliko; Jacskon Happy 12 nga yava Mityana, Nicholas Kalyango 13 nga yabula okuva e Masaka, Winnie Babirye 11 eyava e Busunju mu Mityana n’omulala eyatageerekeseeko erya Nalukwago 10 nga yabula okuva e Katooke.

Omu ku baana; Winnie Babirye yategezezza nti kitaawe yasuulawo nnyina n'awasa omukazi omulala ng’ono yali amutulugunya okutuusa lwe yeekyawa n'adduka ewaka n'atambula okutuusa lwe yatuuka e Nansana wabula nga talina n’omu gw’amanyi.

Atwala ofiisi ekola ku nsonga z’abaana n’amaka ku poliisi ye Nansana, ASP Amelia Tumwehe ategezezza nti omuwendo gw’abaana ababula mu Nansana gweyongedde nga kiva ku bazadde obutaba na buvunanyizibwa eri abaana babwe.

Ategeezezza nti singa abazadde b’abaana bano banaabula, bagenda kubakwasa ofiisi ekola ku nsonga z’abaana (probation office) ku disitulikiti y'e Wakiso ebafunire we bayinza okubeera.