Eyeerangirira ku Bugabe bwa Ankole bamugobye mu Lubiri

By Ali Wasswa

KITAAWE w’eyeerangirira okubeera omugabe wa Ankole, Edrisa Kitobobo amugobye mu lubiri.

Ankole 350x210

Kiddiridde obutakkaanya obwabaddewo mu Lubiri obwavuddeko Kitobobo okumenyaeka omukono.

Mu lukuηηaana lwe yatuuzizza mu lubiri luno ku kyalo Itaaba, Kitobobo yategeezezza nti mutabani we ono, Umar Rubambasi tamutumanga kweyita Mugabe wa Ankole wabula yali amutumye okulaba eηηoma Bagyendanwa eyali ey’omu lubiri eyatwalibwa mu kifo ekikuumirwamu ebyobuwangwa n’ebyafaayo e Kampala n’okulaba nga Ankole eddizibwa ekitiibwa kyayo ekkirizibwe okuzzaawo obufuzi bw’esikirano, kyokka bwe yatuuka eyo ate ne yeeyita omugabe wa Ankole, ekikyamu.

Kitobobo ategeezezza nti ku lwa December 31 nga balindiridde okwaniriza omwaka, Rubambasi yazze avuga mmotoka kyokka omu ku baganda be bwe yagenze okuggyawo emisanvu ku wankaaki amuggulire n’ayagala okumutomera.

Agattako nti baalabira awo nga mu mmotoka mufubutukamu abantu olutalo ne lukwajja we baamukubira omukono ne gumenyeka.

Alagidde Rubambasi okujja abeetondere n’okumenyawo eky’okweyita Omugabe wa Ankole.

Rubambasi tafunise kubaako ky’annyonnyola.