Gwe baakutte ku by’okutta abawala agaanye okwogera

By Musasi wa Bukedde

OMUVUBUKA eyakwatiddwa nga kigambibwa nti yasse abawala Abacongo babiri atabudde abeebyokwerinda bw’aganye okubaako kyayogera n’agamba nti alinda looya we.

Papa 350x210

Bob Francy olumu nga yeeyita Justin Sisco Mashal ng’abaserikale bagamba nti basinga kumuyita Malimali Ndihoma nga nzaalwa y’e Congo yakwatiddwa ku Mmande ya wiiki eno nga kigambibwa nti yabadde agezaako okufuluma eggwanga.

Omuvubuka ono yabadde apangisa ennyumba omwasangiddwa emirambo gy’abawala ababiri okwabadde Hulda Njiba n’omulala eyategeerekeseeko erya Safi e Mmengo mu Kakeeka Zooni.

Battibwa kiro kya Lwakutaano, emirambo ne gizuulwa ku Ssande ekiro.

Wabula Malimali bwe yajja mu Uganda yakyusa amannya ng’okusinziira ku bantu baabadde asula nabo mu kisaakaate abadde yeeyita Bob Francy.

Poliisi mu kumukunya ennyo yagitegeezezza nti abadde muganzi w’omuwala omu ayitibwa Njiba era nga yajja mu Uganda omwezi oguwedde okuwummulamu.

Wabula omuvubuka ono yagaanye okubaako kyayogera ku by’okutta abawala ng’agamba nti alinda looya we.

Kyazuuliddwa nti abadde alina kaadi eraga nti muserikale mu poliisi y’e Congo.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire yagambye nti Malimali yakwatiddwa nga bwe banoonyereza ku ttemu lino.