Mugisha wafuuka ddi taata wa Bebe ne Bobi?

By Musasi wa Bukedde

Abadigize abaabadde mu kivvulu kya Eddy Kenzo ku Serena Hotel baasigadde beebuuza engeri Roger Mugisha eyali nnannyini kibiina kya Shadow Angels ekyalimu abawala abazinira mu bukete gye yafuukaamu Taata wa Bebe Cool ne Bobi Wine.

Paapa 350x210

Abazze bagoberera omuziki baagambye nti Mugisha ekibiina yakirina mu myaka gya 2,000 ate Bobi n’afulumya ‘Akagoma’ mu 2002 kwe yazza Funtula lwe yakuba ne Bebe Cool.

Wano abantu we baatandikidde okukubagana empawa nti Mugisha yayagadde kuliira ku banne buyinja naye talina ky’amaanyi ky’abasinga kiyinza kumuyisa taata waabwe.

Kyokka waliwo atugambye nti Mugisha we yatandikira ekibiina ky’abawala bano yali aludde mu nsiike ya katemba nga bano yabalabanga abaana abato we baatandikira okuyimba.