Museveni ayozaayozessa Onyango olw'okuwangula ekya kkipa asinze mu Afrika

By Muwanga Kakooza

PULEZIDENTI Museveni ayozayozezza Dennis Onyango olw’okulondebwa nga ggoolo kkipa asinze okukola obulungi ku lukalu lwa Afrika n’agamba nti talina kuwanaanya kwonna nti obukugu bwe mu kukwata ggoolo ky’ekimu ku biretedde Uganda obuwanguzi ensangi zino.

Dwbr2e0wwaaxtjb1 350x210

 ‘’Njozayoza mutabani wange Dennis Masinde Onyango olw’okulondebwa okuba omu ku bazannyi 11 abasinze okukola obulungi ku lukalu lwa Afrika ku mukolo ogwabadde e Dakah Senegal. 

Ssirina kuwanaanya kwonna nti obukugu bw’olina mu kukwata ggoolo bukoze kinene okutuusa Uganda ku buwanguzi bw’eriko ensangi zino’’ Museveni bwe yagambye.             

Obubaka buli ku mukutu gwe ogwa Twitter nga bwadiridde  Onyango okulondebwa nga ggoolo kkipa asinze banne  mu Afrika. 

Uganda yayiseewo okwetaba mu mpaka za Africa ez’omupiira gw’ekikopo kya AFCON ng’ekyabuzaayo omupiira mulamba gw’ennazannya ne Tanzania mu March 2019  kyokka tenateebwamu ggoolo n’emu wadde okuwangulwa.

Onyango ye yatwala  ekirabo  ky’omusambi w’omupiira asambira ku lukalu lwa Afrika eyasinga banne mu 2017 era ne Cranes n’etwala  ekirabo ky’okuba ttiimu eyasinga zinne wazo  ku lukalu lwa Afrika okuzannya omupiira.

Kyokka ku mulundi guno ebya Cranes byagaanyi.