'Guno gugenda kuba mwaka gwa kaasammeeme mu bukulembeze bwa Kampala'

By Hannington Nkalubo

LOODI meeya Erias Lukwago agambye nti omwaka guno gugenda kuba gwa kaasammeeme mu bukulembeze bwa Kampala era mu bbanga ttono agenda kuyisa amateeka agagenda okuluhhamya emirimu mu Kampala.

Lordmayoreriaslukwago 350x210

Yategeezezza nti agenda kuyisa amateeka ku nnonda y’obukulembeze bw’abasuubuzi n’enzirukanya y’obutale.

Etteeka eriruhhamya obukulembeze bwa takisi mu kibuga, n’agafuga bodaboda mu Kampala.

Amateeka amalala kuliko agafuga enkozesa ya kamera (CCTV Camera) ku nguudo mu kibuga ate agenda kusitukiramu okukwasisa amateeka ku buyonjo ng’alagira baddemu batunuulire enkola ya kkampuni eziyoola kasasiro mu kibuga oba zirina obusobozi.

Lukwago yagambye nti agenda kugaba emmotoka ttaano mu munisipaali ezikola Kampala okusobola okukola ku buyonjo. Bino yabitegeezezza bannamawulire ku City Hall mu Kampala .

Yabadde n’omubaka Betty Nambooze Bakireke eyalondebwa ku bwaminisita bwa Kampala ku ludda oluvuganya.

Yagambye nti pulaani ekwata ku myala yafuluma omwaka oguwedde era ayagala etandike amangu ddala okussibwa mu nkola.

N’agamba nti omwaka guno 2019 ayagala emyala okuba nga gikoleddwa, amazzi aganjaala nga gakoleddwaako ssaako enteekateeka zonna nga zissiddwa mu nkola ekibuga kibeere nga kikyukira ddala.